Kabaka addukiridde Gavumenti n’obukadde 200

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’addukiriira Gavumenti ya Wakati n’obukadde bw’ensimbi 200 nga zinno zakozeseddwa okugula ebikozesebwa mu kukubera obulwadde bwa Nalubiri (sickle cell). Ssente zino zezimu kuzaava mu Misinde gy’Okuza Amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka guno.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeyakoze omukolo ogw’okwasa Minisitule y’Ebyobulamu ku Kkebero ly’Omusaayi (lab) erya gavumenti e Butabika mu Kyaddondo.

Katikkiro Mayiga ng’abuuza ku mwana omulwadde wa Sickle Cell wamu ne nyinna

Katikkiro yategezeezza era n’akubira abantu omulanga okwekebeza nga tebanazaala baana balabe oba basobola okwewala obulwadde buno. Katikkiro era yasabye Banaddiini okusomesa abantu nti obulwadde bwa Nalubiri si ddogo wabula bulwadde bwenyini. Yasabye abantu balekere awo okweraguza bwe babeera bafunye obulwadde bwa Nalubiri wabula bafune obujjanjabi.

Minisitule y’Ebyobulamu yasiimye nnyo Beene okubaddukiriira ku nsonga eno.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *