KABAKA AGGUDDEWO OLUKIIKO LWA BUGANDA, ABANTU BAFUDDE ESSANYU

Mwekuume abalubirira okutujja ku mulamwa

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi agguddewo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwe 26 era asinzidde ku mukolo guno n’akubiriza Obuganda bufungize okukuuma ebyo ebituukiddwako mu myaka 25 egiyise wamu n’okwekengera abo abaluubirira okujja abantu be ku mulamwa.

‘Tufungize okukuuma ebyo Mukama byatusobozesezza okutuukako mu myaka 25 egiyise nga tulwanyisa abo bonna abagenderera okutujja ku mulamwa’ Kabaka abadde ne Nabagereka ku lusegere wamu ne Namasole Elizabeth Siwoza bw’agambye mu bubaka bwe eri Obuganda wakati mu kubwatuka kw’engalo. Azzeemu okujjukiza Obuganda bufumiitirize ensonga ze yakonaako mu kujaguza Jubireewo omwali okuvumirira omululu omuvudde ebikolwa eby’enguzi n’obulyake mu ggwanga.

Kabaka mu kuggulawo Olukiiko

Olukiiko lwetabiddwamu ab’olulyo olulangira, abakungu ba Kabaka n’abakulembeze mu biti ebyenjawulo olwo abaalondeddwa ku bubaka mu Bulaaya n’ebitundu by’ensi ebirala mwe beyanzirizza obwami mu maaso g’omutanda ne beeyama okuwereza awatali kumutiiririra. Bano kubaddeko Esther Nasuuna (Colorado), Mulindwa (Swaziland), Enock Kiyaga Mayanja avunaanyizibwa ku bendobendo ly’e Manchester, Gatrude Ssebuggwawo (Kooki), Rebecca Mukulu Lubega (Scotland) ne Recheal Nabudde (East London).

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayozayozezza Kabaka olw’ebyo ebituukiddwako wansi w’obukulembeze bwe mu myaka 25 egiyise omuli okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulamu, okulwanyisa obwavu, okukendeeza ku bbula ly’emirimu naddala mu bavubuka n’agamba nti buno buwanguzi bunene wakati ng’Obuganda bukyagenda mu maaso n’okujaguza Jubireewo.

Kabaka mu kuggulawo Olukiiko
Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *