Abavubuka tukolere wamu ku byaffe – Ssaabasajja Kabaka

Ssaabasajja Kabaka asabye abavubuka okukolera awamu ku nsonga ez’ebyaffe olwo Buganda esobole okudda ku Ntikko. Kabaka yayogedde bino ku Hotel Africana mu Kampala ng’aggalawo Ttabamiruka w’abavubuka ng’egimu ku mikolo gy’Amatikkira Jubireewo.

“Twagala okujjukiza nti newankubadde nga tulina byetusobodde okukola n’okutuukako, naye olugendo lukyali luwanvu era tetusuubira bavubuka baffe okukoowa yadde okuwummula nga tetunnatuuka gyetugenda.
Wabula mu kiseera kino twetaaga okwetegekera ekitundu ekiddako, ekitundu ekiddako kyetaaga amaanyi , okwewaayo n’okwogera n’eddoboozi erimu ku nsonga ezikwata ku byaffe awatali kwekutulamu,” Kabaka bweyagambye.

Wabaddewo abavubuka bangi nga buzibuzibwa naddala abamu ku bakulu abaliko e Mengo kyokka ne bagobwa olw’obutabeera besimbu bulungi. Badda kubavubuka abamu ne babasigulasigula. Kino kyaviriiddeko Kabaka okubalabula bakwate ekkubo limu ne Mengo olw’obulungi bwe ggwanga lyaffe Buganda.

 

Ssaabasajja Kabaka ng’ayogera eri omukolo ogw’okuggalawo Ttabamiruka w’Abavubuka ku Hotel Africana mu Kampala

Okwogera kwa Ssaabasajja Kabaka mu kuggalawo Ttabamiruka w’abavubuka ba Buganda ku Hotel Africana mu bujjuvu. 

Ba member ba palamenti, Baminisita okuva mu gavumenti eya wakati, Baminisita okuva e Mengo, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, Bannaddiini, Ebibiina by’abavubuka,abagenyi baffe mwenna.

Tusanyuse nnyo okulaba nga Ttabamiruka ajjumbiddwa bulungi bwati era tusiimye nnyo olukiiko oluteesiteesi na bonna abasomesezza mu Ttabamiruka ono ,mwebale nnyo ,mwebalire ddala.

Olwaleero njagala okutunuulira ensonga ssatu;
1). Tulina essubi nti mu nkungaana nga zino, abavubuka baffe bajja kuzeeyambisa okwetegereza ebyo byonna ebyasoba mu ggwanga lyaffe n’okwewaayo okubigonjoola. Okubigonjoola nga bali mu ngeri eneegoberera amateeka n’obwannanyini ku bintu eby’enjawulo.

Tulowooza nti ensisinkano eno etunuulidde n’obuweereza obulambikibwa gavumenti eno ku nsonga z’abavubuka. Gavumenti erina entegeka zetaddewo okuyamba abavubuka naddala okubayamba eyo mu nsonga z’obulimi era enteekateeka ezo zikola wamu n’endala ez’okwejja mu bwavu.Naye tutera okuwulira nti entegeka ezimu zikoma awo mu kkubo, entegeka ezo zijja kufuuka ez’amakulu singa zituusibwa ku bavubuka bonna mu ggwanga lyonna okutwalira awamu.

2). Twagala okujjukiza nti newankubadde nga tulina byetusobodde okukola n’okutuukako, naye olugendo lukyali luwanvu era tetusuubira bavubuka baffe okukoowa yadde okuwummula nga tetunnatuuka gyetugenda.
Wabula mu kiseera kino twetaaga okwetegekera ekitundu ekiddako, ekitundu ekiddako kyetaaga amaanyi , okwewaayo n’okwogera n’eddoboozi erimu ku nsonga ezikwata ku byaffe awatali kwekutulamu.

3). Buli muvubuka mu Buganda tumukubiriza okwewaayo n’okwongera amaanyi mu kusoma kibasobozese okuvuganya obulungi nga munoonya emirimu . Tulina okukomya okulowooleza okunoonya emirimu mu mawanga ag’ebweru buli kiseera naddala mu nsi ezo abantu baffe gyebagenze nebafunirayo obuzibu.

Tuddamu okwebaza abo bonna ababadde mu ntegeka ez’emikolo egya leero ne bannaffe aba Hotel Africana. Katonda abakuume.

Abavubuka abetabye mu Ttabamiruka waabwe ku Hotel Africana
Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *