Alipoota y’Ennyingiza n’Ensasaanya 2017/2018 n’Embalirira y’Ennyingiza n’Ensasaanya 2018/2019

Omuwanika wa Buganda yawa Embalira y’Obwakabaka ey’omwaka 2018/2019. Tukuletedde emboozi eno yonna mu bujjuvu.

 

Omulamwa gw’Embalirira ya 2018-2019:

“Okunnyikiza, Okunyweza n’Okutumbula ebyo bye tulinamu enkizo”

A:      Ennyanjula

 

Sipiika wa Olukiiko lwa Buganda,

Katikkiro,

Abeekitiibwa Baminisita ba Ssaabasajja,

Abeekitiibwa Ababaka b’Olukiiko

Bassentebe wamu ne bammemba b’Enkiiko eziddukanya ebitongole by’Obwakabaka

Bassenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka,

Abeekitiibwa n’Abakungu okuva mu Gavumenti eya Wakati,

Abagenyi baffe ab’Enjawulo,

Bassebo ne Bannyabo.

  1. Mukama wange Sipiika, nina essanyu nate okwanjulira Olukiiko luno wamu n’Obuganda embalirira y’Ennyingiza wamu n’Ensasaanya eby’Obwakabaka eby’omwaka 2018/2019. Mbuganye essanyu kubanga Embalirira eno eyanjulwa mu kiseera nga Obwakabaka bujjaguze bwe giweze emyaka 25 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo ya Bajjajjabe alamula.
  2. Sipiika, nga ffenna bwetumanyi, eno y’Embalirira esembayo eyanjuddwa nga tumalako Nnamutaayiika w’Obwakabaka ow’emyaka etaano (2014 – 2018). Bwe neetegereza bye tuyiseemu mu myaka egyo, nkizudde nti kisaanidde bulijjo okunnyiikira okukola buli kirungi ekiri wansi w’enjuba ate mu bwangu olwo nno ne Ddunda lwasobola okukwerulira amakubogo. Nzikkiriza nti tukoze ekisoboka era nga tufubye mu ngeri zonna okubaako bye tutuukiriza. Neebaza Katonda olw’ekisa kyatulaze nga tutambula olugendo lwaffe olw’emyaka etaano.
  3. Mukama wange Sipiika, amazima gali nti Ssaabasajja atukulembedde bulungi era atuluŋŋamizza mu ngeri yonna esoboka. Tuli basanyufu nti mukama waffe teyeerekerezza ng’atukulembera era ali wamu naffe mu buli nsonga ka libeere ssanyu oba kusoomoozebwa kwe tusanga. Kale nno nga tuteekateeka Embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2018/19, obukulembeze bwa mukama waffe Ssaabasajja wamu n’emisingi egyateekebwawo bannaffe abaatusooka mu buweereza, byongedde okutuluŋŋamya wamu n’okutulambika mu mbeera zonna. Emisingi gino gyegituwa omukisa okukola enteekateeka ezisoboka okusobola okukyusa embeera z’abantu baffe era n’okwenyigira mu bulamu obulungi nga tuteeka mu nkola Nnamutaayiika w’Obwakabaka.
  4. Oweekitiibwa Sipiika, emyaka etaano (5) egiyise, Obwakabaka bubadde butambuliza emirimu gyaabwo ku Enteekateeka Namutayiika eya 2014 – 2018. Obwakabaka bufubye okutuukiriza ebyo byonna ebyalambikibwa mu Nnamutaayiika 2014 – 2018 era nga tuli basanyufu nti waakiri ebitundu 85% eby’enteekateeka eno bituukiriziddwa. Ebitundu 15% ebitatuukiriziddwa, tetugenda ku bisuula bbali wabula okufuba okubituukiriza mu Nnamutaayiika 2018 – 2023 eyayanjulwa mu Lukiiko luno era nayisibwa.
  5. Mukama wange Sipiika, omwaka gw’Ebyensimbi 2017 – 2018, gubaddemu okusoomoozebwa kungi naddala mu by’ensimbi kubanga ne Gavumenti eyawakati tesasudde yadde ekikumi ku nsimbi ze tugibanja, era nga twafuna kitundubutundu kwebyo bye twasuubira okufuna okuva mu makubo ag’enjawulo. Newankubadde ekyo kiri bwekityo, nina essanyu okwanjulira Obuganda nti tusobodde okutuukiriza ebitundu kinaana mu bitaano ku buli kikumi (85%) eby’ensimbi zetwasuubira okuyingiza (Obuwumbi 62.08 ku buwumbi 73 ezaabalirirwa). Kino nno bannange tekitegeeza nti obuwumbi obwo obwayingizibwa buterekeddwa mu Ggwanika lya Buganda, wabula ezo ze nsimbi ezeeyambisibwa okukola emirimu egimu gyengenda okubanjulira mu kitundu ekiddako.
  6. Oweekitiibwa Sipiika, ensimbi ze twalemereddwa okuyingiza mu mwaka gw’ebyensimbi 2017 – 2018 (bye bitundu 15%), okusingira ddala kivudde ku mbeera y’ebyenfuna mu ggwanga Uganda. Ffenna nga bwetubadde tugoberera, ebyenfuna mu ggwanga tebitambula bulungi songa ennyingiza yaffe esinga yeesigamiziddwa ku mbeera y’ebyefuna mu ggwanga.
  7. Newankubadde, mu ngeri emu twalemererwa okuyingiza ensimbi nga bwe zaabalirirwa olw’okusoomoozebwa okwogeddwako waggulu, era nga kino kyataataganya okuteeka mu nkola enteekateeka zaffe, naye era nina essanyu okutegeeza Obuganda nti tusobodde okubaako ebintu ebyomuzinzi ebituukiddwako naddala; okutumbula eby’Obuwangwa n’ennono, okukyusa obulamu bw’abantu ba Buganda, okutandikawo ebyo ebinaayamba Obwakabaka okusobola okwemalirira mu byenfuna wamu n’okubangawo embeera eneesobozesa Gavumenti ya Ssaabasajja okukulaakulanya wamu n’okukyusa embeera z’abantu ba Buganda.
  8. Mukama wange Sipiika, Gavumenti ya Ssaabasajja wamu n’Obwakabaka tukyanyweredde ku Nsonga Ssemasonga Etaano (5) okulaba nga tuziggusa.
Owek Robert Waggwa Nsibirwa

Oweek. Sipiika, mu kiseera kino nzikiriza nyanjulire Olukiiko luno wamu n’Obuganda bino wammanga:

  • Embeera y’ebyenfuna nga bwebadde mu mwaka 2017 – 2018
  • Ennyingiza n’Ensasaanya nga bwe byasuubirwa mu mwaka 2017 – 2018
  • Ebikulu ebituukiddwako mu mwaka gw’ebyensimbi 2017 – 2018
  • Ebinaakolebwa ebikulu mu mwaka 2018 – 2019
  • Embalirira y’Ennyingiza n’Ensasaanya ebisuubirwa mu mwaka 2018 – 2019
  1. Mukama wange Sipiika, mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde, nfunye omukisa okusisinkana n’okukolagana n’abaami ba Ssaabasajja ku mitendera egy’enjawulo. Kale nno njagala ku lwange ne ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja, mbeebaza nnyo olw’omulimu ogw’ettendo ogukoleddwa wakati mu kwewaayo, obwagazi n’obuwagizi obw’engeri zonna nga mwotwalidde n’obwesimbu abaami bano bye balaze eri Gavumenti ya Ssaabasajja.

 

B: Embeera y’ebyenfuna nga bwebadde 2017/18

 

  1. Mukama wange Sipiika, nga bwe kimanyiddwa, Buganda gwe mutima gwa Uganda era kitegeerekeka bulungi nti buli ekikwata ku byenfuna mu ggwanga kimaliriza kikosezza Buganda mu byenfuna wamu n’enkulaakulana yaayo.

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, nzikkiriza nokoleyo kwebyo ebikulu naddala ebikwata ku byenfuna era ebisinze okukwata ku ngeri Embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017-2018 gyetuukiriziddwaamu.

Ebyenfuna mu Nsi Yonna

 

  1. Mukama wange Sipiika, okwetolola ensi yonna, naddala mu mawanga ganaggwadda; wabaddewo okukulaakulana mu byenfuna era nga kino kyeyolese nyo mu mawanga ku ssemazinga wa Bulaaya. Embeera y’emu erabikidde mu mawanga agakyakula. Kino nno kisinze kuleetebwa enteekateeka ezikoleddwa amawanga agenjawulo mu kaweefube w’okutumbula ebyenfuna mu mawanga gano.

 

  1. Mu kiseera kye kimu, walabiseewo okulinya mu bbeeyi y’ebintu eby’enjawulo ebyettanirwa mu mawanga ag’enjawulo ekiwadde essuubi nti osanga ebyenfuna mu nsi yonna bitandise okudda engulu. Okudda engulu mu mawanga ag’enjawulo naddala nga mu America, kuleeteddwa nnyo bamusiga nsimbi songa mu Bulaya kuvudde ku kudda engulu kw’ebyobusubuzi.

 

  1. Ekyeraliikiriza mu mbeera eno yonna, kwekuba nti amawanga ag’enjawulo naddala ganaggwadda gongedde okuteekawo emiziziko mu nsuubulagana n’amawanga agakyakula era ageesigamye ennyo ku nsuubulagana n’amawanga ago. Mu ngeri y’emu twesanze nti mu bitundu by’ensi eby’enjawulo waliwo obukuubagano bungi mu by’obufuzi ekitadde ensi ku bunkenke.

 

Ebyenfuna mu Nsi ezitwetoolodde

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, embeera y’ebyenfuna mu nsi ezitwetolodde naddala mu mawanga ag’obuvanjuba bwa ssemazinga w’olukalu lw’omuddugavu wabaddewo okukulaakulana mu by’enfuna era nga amawanga omuli; Ethiopia, Rwanda, Tanzania, (wakati w’ebitundu 6.1% ne 10.3%). Mu ggwanga lya Kenya, enkulaakulana (4.9%) yatataaganyizibwa nnyo ekyeya ekyatwala ebbanga eddene ne kikosa eby’obulimi n’obulunzi wamu n’amasanyalaze ge basobola okufuna okuva mu biyiriro ebyenjawulo. So nga n’ebyofuzi naddala okulonda okwaliyo kwatataaganya nnyo emirimu gya banneekolera gyange olw’ebbugumu n’obunkenke obwakulimu.

 

  1. Mukama wange Sipiika, mu ngeri y’emu, amawanga nga Congo (3.4%) n’obukiika ddyo bwa Sudan (South Sudan) amawanga Uganda ge gasinga okusuubulagana nago waliyo okunafuwa mu by’enfuna. Kino nno okusinga kireeteddwa ebyenfuna ebidda engulu akasoobo songa n’ebyobufuzi mu ggwanga lya Congo naddala okulonda okusuubirwa okubeera mu Congo birina kinene kye bikoze okukosa ebyenfuna naddala ku ludda lwa bamusiga nsimbi. E South Sudan, embeera y’ebyobufuzi obwa kirwanire tukimanyi bulungi nti butataaganyiza nnyo ebyenfuna mu ggwanga lino. Kino kyeraze lwattu kubanga okumala emyaka ebiri eggwanga lino libadde lisereba buserebi mu byenfuna.

Embeera y’Ebyenfuna mu Uganda – 2017/18

 

  1. Mukama wange Sipiika, nzikkiriza nate nokoleyo ebitonotono ku mbeera y’ebyenfuna nga bwebadde mu ggwanga lyaffe Uganda mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018.

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, mu mwaka gw’ebyensimbi gwe tumalako, eggwanga okutwaliza awamu lifunye embeera y’obudde esobozeseza abalimi n’abalunzi okwenyigira obulungi mu mirimu gyabwe songa ne bamusigansimbi okuva mu mawanga amalala bongedde okweyunira eggwanga Uganda.

 

  1. Gavumenti ya wakati okussa essira ku kukola enguudo wamu n’okwongera ku bungi bwa masanyalaze nga bazimba amabibiro g’amasanyalaze nakyo kiyambyeko mu kuddabulula ebyenfuna mu ggwanga ebyawagulu. Ebyenfuna mu ggwanga bya kukulaakulana ebitundu 5% mu mwaka gwetumazeko.

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, obubonero bulaga nti emirimu mu makolero mu ggwanga bitandise nabyo okudda engulu era nga ebikolebwa mu makolero gano naddala ebitundibwa mu mawanga ag’ebweru byeyongedde. Kino kirabiddwa nnyo mu bintu ebikolebwa okuva mu byuuma songa n’ebyo ebikolebwa okuva mu by’obulimi n’obulunzi nabyo byeyongedde.

 

  1. Newankubadde ebyenfuna byogerwako nga ebikulaakulana ku misinde, naye omutindo gw’enkulaakulana gukyasoomooza eggwanga lyaffe. Okusoomoozebwa kwetuyiseemu mu by’enfuna mu myaka egiyise tebitulese bulungi kubanga okunoonyereza okukoleddwa kulaga nga obungi bw’abantu baffe abatakyasobola kwetuusaako byakulya wakiri emirundi ebiri olunaku bweyongedde era nga kuvudde ku bitundu 19.7% (2013) okutuuka ku bitundu 21.4%. Tusaana tujjukire nti mu mwaka 2006, bannayuganda abaavu lunkupe baali ebitundu 31.1%. Mu kiseera kino, bannayuganda abaavu lunkupe bali Obukadde Munaana (8,000,000).

 

  1. Mukama wange Sipiika, ensonga ezisinze okututuusa ku bwavu bwe tulaba mu kiseera kino kwekuba nga okukulaakulana mu byenfuna mu ggwanga kuddiridde songa n’obungi bw’abantu kweyongedde. Mu ngeri y’emu, twesanze nti wabaddewo okugayaalirira ebintu bye tulinamu enkizo ebyanditutte ebyenfuna mu maaso nga obulimi n’obulunzi ebirina akakwate ku makolero kubanga okugeza nga obulimi n’obulunzi byebisinga okukozesa abantu baffe mu ggwanga era nga bisobole bulungi okufunira abantu baffe emirimu nga watandikidwaawo amakolero agalongoosa ebirime n’ebirundibwa okusinga okwesigama ennyo ku bulambuzi n’ebirala ebiringa ebyo.
  2. Okunoonyereza kulaze nti ensonga ezisinze okuvaako okuddirira mu kukula kw’ebyenfuna kwekufiirizibwa okuli mu bulimi n’obulunzi. Nga kino okusinga kivudde ku butabeerawo butale bwa birime n’ebirundibwa, ensimbi entono omulimi oba omulunzi z’ayinza okwewola okukola emirimu gye wamu n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde mu ggwanga.

C: Alipoota ku Mbalirira y’Omwaka gw’Ebyensimbi 2017/2018 n’ebikoleddwa

Ebyagendererwa mu Mbalirira y’Omwaka 2017/2018

 

  1. Mukama wange Sipiika, olw’ensonga nti guno gwe gwali omwaka ogusembayo mu kuteeka mu nkola Enteekateeka Namutayiika 2014 – 2018, omulamwa gwaffe gwali: “EBISEERA EBITANGAAVU EBY’OMUMAASO: BUGANDA KUKOLA SO SSI BIGAMBO”. Embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2017/2018, yagendererwamu okunyweza n’okuggusa ebintu ebikulu bisatu:

 

  • Okukuuma n’okutumbula eby’obuwanga n’ennono
  • Okukyusa n’okutumbula embeera z’abantu ba Ssaabasajja
  • Okuteekawo n’okuzimba enkola ennuŋŋamu wabeerewo enkulaakulaana ey’omuggundu ate nga etwaliramu abantu ba Buganda bonna.

 

Mu kutuukiriza ebyo waggulu, eby’enkizo mu Mbalirira y’ Obwakabaka 2017/2018 byali:

  • Okumaliriza omulimu gw’okuzzawo Muzibu Azaala Mpanga mu masiro ge Kasubi
  • Okukola Namutayiika wa Buganda 2018 – 2023.
  • Okwongera omuwendo n’amaanyi mu nsiisira z’Ebyobulamu olw’okutumbula embeera z’ebyobulamu ebisookerwako okusobozesa okutangira endwadde ez’enjawulo
  • Okwongera amaanyi mu “Emmwanyi Terimba”
  • Okuddamu okuwumbawumba n’okwongera amaanyi mu mulimu gw’okuwagira n’okukulaakulanya abavubuka nga tuyita mu bibiina byabwe. Nga muno mulimu okumaliriza Enteekateeka Namutayiika ey’Okukulaakulanya abavubuka wamu n’okufuna omukugu mu Minisitule ya Abavubuka avunaanyizibwa ku bavubuka.
  • Ebyempuliziganya, okumaliriza omulimu gw’okufunira Leediyo ya CBS situdiyo empya
  • Ebyenjigiriza – okwongera amaanyi mu Kabaka Education Fund nga tukwatagana n’ebitongole eby’enjawulo okusobola okufunira abayizi sikaala mu mawanga ag’ebweru wa Uganda. Muno mujjakubaamu n’okwongera amaanyi mu kusaasanya amawulire agakwata ku basale ezigabibwa mu Minisitule.
  • Okwongera amaanyi n’obukugu mu mirimu gya SACCO ezitandikiddwaawo mu Bwakabaka; PEWOSA, Ssuubi Lyo ne Buladde okutumbula embeera z’abavubuka n’abakyala mu Buganda
  • Okuteeka mu nkola ekitundu eky’okubiri eky’okuddabiriza Twekobe ne Butikkiro
  • Okumaliriza Enteekateeka Namutayiika ey’ebyemizannyo mu Buganda
  • Okwongera amaanyi mu Buganda Tourism Expo tusole okugifuula olunaku minisitule, ebitongole n’amakampuni g’Obwakabaka kwebyolesezza eri Obuganda emirimu gy’ebikola (Buganda Expo & Open Day).

Olutabaalo Lwembalirira 2017/2018

 

  1. Sipiika, omwaka gw’Ebyensimbi 2017/2018 gwe gukomekerezza Nnamutaayiika 2014 – 2018 era nga yadde ng’embeera mwetutambuliza Namutayiika 2014 – 2018, ebaddemu ebisoomoozo, tuli basanyufu nti tusobodde okutuukiriza ebyateekebwateekebwa ebisinga. Kino nno kikkaatirizza obumalirivu bwa Gavumenti ya Ssaabasajja.

 

  1. Mukama wange Sipiika, omwaka gw’Ebyensimbi 2017 – 2018, gubaddemu okusoomoozebwa kungi naddala mu by’ensimbi kubanga ne Gavumenti eyawakati tesasudde yadde ekikumi ku nsimbi ze tugibanja, era nga twafuna kitundubutundu kwebyo bye twasuubira okufuna okuva mu makubo ag’enjawulo. Newankubadde ekyo kiri bwekityo, nina essanyu okwanjulira Obuganda nti tusobodde okutuukiriza ebitundu kinaana mu bitaano ku buli kikumi (85%) eby’ensimbi zetwasuubira okuyingiza (Obuwumbi 62.08 ku buwumbi 73 ezaabalirirwa).

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, ensimbi ze twalemereddwa okuyingiza mu mwaka gw’ebyensimbi 2017 – 2018 (by’ebitundu 15%), okusingira ddala kivudde ku mbeera y’ebyenfuna mu Ggwanga Uganda. Ffenna nga bwetubadde tugoberera, ebyenfuna mu ggwanga tebitambula bulungi songa ennyingiza yaffe esinga yesigamiziddwa ku mbeera y’ebyefuna mu ggwanga. Nzikiriza nokoleyo nha binna okuyingiza okutatukiride:

 

Ekkubo eryasuubirwa okuyingiza ensimbi Ezitaafunibwa (ku buli kikumi) Okunyonnyola
Envujjo, Busuulu n’Ekanzu ku ttaka 12% Okutataaganyizibwa Gavumenti eya wakati naddala ku Kyapa mu Ngalo
Ensimbi ezibanjibwa okuva mu Gavumenti eya wakati 100% Gavumenti teyawa nsonga lwaki tesasudde nsimbi zigibangibwa
Ebisale okuva mu bayizi 21% Okutataaganyizibwa mu nzirukanya ya Muteesa I Royal University
Emikutu gy’Ebyempuliziganya n’Amawulire 27% Emirimu gya K2 Telecom gyatataaganyizibwa era tebadde ku mpewo ebbanga lino lyonna.
Ensimbi Eggwanika lye zibanja 82% Ebitongole ebibanjibwa byafuna okutataaganyizibwa mu nnyingiza zaabyo.

 

 

  1. Buganda ebanja gavumenti eyawakati Obuwumbi obukunukkiriza 172 naye kati emyaka esatu gavumenti tetusasula. Kino no kitaataaganyizza enzirukanya y’emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja. Katikkiro akiddiŋŋanye lunye nti bwoba obanja olina okukola ebirala osobole okubeerawo, tokola kyakubanja kyokka. Okulambika kuno mwetutambulira mu by’ensimbi n’emirimu emirala.

 

  1. Mukama Wange Sipiika ekirala kye njagala okutegeeza abakiise n’Obuganda obutuwuliriza era n’obutulaba ku terefayina, y’ensonga y’okuba nti ebitongole by’Obwakabaka ebyetongodde ebikunuukiriza mu 16 ebikola ebyobusubuuzi bisasula emisolo mu kitongole kya Gavumenti eyawakati ekigisolooza ekya Uganda Revenue Authority(URA); ate nga mwenna mukimanyi bulungi nti ennaku zino emisolo ekitongole kigibanja kiyimiridde – awatali kutuganya kussa ku mukka!!!

 

  1. Mu kkowe lyerimu, abantu bangi n’ebitongole bingi ebirala byo gavumenti ebisasula era ebisasudde naye eza Buganda za kusimba kaggo omuli mujje eno ate mugendi eri oba ndibalaba luli. Tuguminkirizza ekisusse era tulinze bannaffe be kikwatako beekube mu mutima basasule ensimbi z’Obwakabaka Ssaabasajja Kabaka asobole okwongera okutuusa ku bantu be obuwagizi obusaanidde.

 

  1. Newankubadde, mu ngeri emu twalemererwa okuyingiza ensimbi nga bwe zaabalirirwa olw’okusoomoozebwa okwogeddwako waggulu, era nga kino kyataataaganya okuteeka mu nkola enteekateeka zaffe, naye era nina essanyu okubategeeza Obuganda nti tusobodde okubaako ebintu eby’omuzinzi ebituukiddwako naddala; okutumbula eby’Obuwangwa n’ennono, okukyusa obulamu bw’abantu ba Buganda, okutandikawo ebyo ebinaayamba Obwakabaka okusobola okwemalirira mu byenfuna wamu n’okubangawo embeera eneesobozesa Gavumenti ya Ssaabasajja okukulaakulanya wamu n’okukyusa embeera z’abantu ba Buganda.

 

D: Ebimu ku bikulu Ebikoleddwa Minisitule n’Ebitongole eby’enjawulo mu mwaka 2017/2018

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, kinnajjukirwa nti Gavumenti ya Ssaabasajja erina Minisitule 14 era nga Minisitule ezisinga zikola emirimu gyazo nga ziyita mu bitongole eby’enjawulo.

 

Wammanga bye bimu ku bikoleddwa woofiisi ne minisitule ez’enjawulo mu mwaka 2017/2018:

  1. A) Woofiisi ya Katikkiro

 

Katikkiro asobodde okutuukiriza emirimu egyenjawulo egyamukwasibwa Nnamunswa era yeetabye mu nkiiko n’ensisinkano ezenjawulo. Katikkiro byeyakola bingi era yabyanjulira Obuganda byeyali awa Alipoota y’Omwaka 2017/2018 mu kwogerakwe eri Olukiiko nga 14 Muzigo 2018.

 

Mukama wange Spiika nzikkiriza nokoleyo ebimu ku bikulu mu ebyo Katikkiro byeyayanjula era muno mulimu:

 

  • Katikkiro yakulembera mu ttimu eyatwala ebirowoozo by’Obwakabaka ku ttaka mu Kakiiko akateekebwaawo okunoonyereza ku nkayaana ku ttaka mu ggwanga akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire. Wano no sirema kwebaza akakiiko k’owkitiibwa Makubuya akakola ku kutekateeka ensonga eno enkulu.
  • Katikkiro yasisinkana Pulesidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’okuteeka mu nkola Endagaano ya Muwakanya 2013.
  • Katikkiro yasisinkana n’abakungu okuva mu Uganda Bureau of Statistics (UBOS) ku nsonga ya maapu ya Uganda ne Buganda.
  • Katikkiro asisinkanye ne Bajjajja Abataka abakulu b’Obusolya enfunda eziwera okuteesa ku nsonga z’Abataka wamu n’engeri Obwakabaka gyebusaanidde okuddukanyizibwaamu.

Katikkiro yawoma omutwe mu nteekateeka “Emmwanyi Terimba” era abadde musaale mu kaweefube w’okutuusa enteekateeka eno ku bantu ba Ssaabasajja mu Masaza gonna.

Katikkiro atuukirizza obuvunaanyizibwa nga “Kabaka ow’ebweru” ng’akiikirira Obwakabaka ku mikolo n’ensonga endala zonna ez’essanyu n’ezennaku eziba ziguddewo. Mu ngeri yeemu, Katikkiro yakyaza aba Kikuyu okuva e Kenya.

 

  1. b) Minisitule y’Ensonga za Buganda Ebweru n’Okukwanaganya Emirimu

Minisitule eno evunaanyizibwa ku kuteekawo empuliziganya wakati w’Obwakabaka n’Abaganda abali ebweru wa Buganda ne Uganda. Ebituukiddwako mu Minisitule bye bino:

 

Ensonga za Buganda Ebweru:    

  • Okutongoza Essaza lya Ssaabasajja mu United Arab Emirates.
  • Okuteekateeka omukolo “Buganda kwe Kwaffe” (Buganda Diaspora Day) nga 28/12/2017.
  1. c) Minisitule y’Ebyenjigiriza

 

(1) Enziruukanya y’emirimu mu Ssettendekero wa Muteesa I Royal University (MRU) egenze eterezebwa era walondebwaawo Olukiiko olufuzi olupya.

(2)         Ettendekero lya Buganda Royal Institute of Business & Technical Education (BRIBTE) limaliriza okuzimba ekizimbe KABAKA MULONDO ekigenda okukwasibwa Ssaabasajja mu nteekateeka za Jubireewo 25.

(3)         Amasomero omuli; Lubiri High School ne Lubiri Nabagereka nago gafuna enkiiko empya ezigaddukanya.

(4)         Kabaka Education Fund – Abayizi abakununkiriza mu 1,000 bebafuna basale ez’amatendekero ag’enjawulo.

(5) Okusakira MRU emmotoka ekozesebwa mu kutendeka abayizi abasoma obwamakanika.

(6) Okusakira amatendekero omuli BRIBTE ne MRU ebyuma ebikozesebwa mu kutendeka abayizi.

(7) BRIBTE yagula bbaasi etambuza abayizi (Institute Bus) y’abasabaze 65.

 

  1. d) Minisitule ya Ssemateeka

 

Minisitule eyongedde okulondoola ensonga z’Ebyaffe n’okutema empenda ez’okubinunula.

  1. e) Ssaabawolereza ne Gavumenti ez’Ebitundu

 

  • Woofiisi ya Ssaabawolereza
  • Enteekateeka z’okuwandiisa wofiisi ya Ssaabawolereza mu mateeka ga Uganda zigenda mu maaso era tusuubira nti mu bbanga ttono tujja kufuna ekkakalabizo lya Ssaabawolereza eriwandiisiddwa mu mateeka.
  • Minisitule ekiikiridde Obwakabaka ne Ssaabasajja Kabaka mu misango egiwerako. Mingi bagiwangudde, emirala abaagitwalayo ne bagigyayo ate emirala gikyawozebwa.
  • Ssaabawolereza ayongedde okulambika Minisitule n’Ebitongole mu Bwakabaka ku ndagaano ezikolebwa n’okuwa obuwabuzi mu by’amateeka.

(2)         Gavumenti ez’Ebitundu

Ettabi lya Minisitule lino lye litwala abaami ba Ssaabasajja Abaamasaza. Emirimu gibadde gitambuzibwa bulungi nnyo era ebimu ku bikoleddwa kuliko:

 

  1. i) Okuteekawo empaka z’amasaza eza buli mwaka n’okutegeka emisomo gy’Abaami b’Amasaza.
  2. ii) Enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey’okugula satifikeeti Minisitule ng’ekolaganira wamu n’ekitongole kya Majestic Brands bagitambuzza bulungi. Luwalo Lwaffe avuddemu Ushs. 335,612,800/=
  3. iv) Ensengeka y’Obukulembeze mu masaza yeeyongedde okulongooka n’okunywezebwa okuviira ddala ku kyalo okutuuka ku mwami wa Ssaabasajja ow’Essaza mu masaza gonna.
  4. v) Embuga y’Eggombolola Mutuba V, Makindye eddaabiriziddwa.
  5. vi) Embuga y’Eggombolola e Bukomero, Ssingo ezimbiddwa

 

  1. f) Minisitule y’Ebyensimbi, Okusiga Ensimbi, Okuteekateeka n’Okukulaakulanya eby’Enfuna

 

Minisitule eno erimu ebiwayi bina era baminisita abagikulira bafubye okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu ngeri eno:

 

(1) Ekitongole ky’Okuteekateeka

  1. i) Kyamaliriza okuteekateeka Nnamutaayiika w’Obwakabaka 2018 – 2023.
  2. ii) Kyamaliriza enteekateeka z’okutandikawo Ekitongole ky’Emiwendo mu Buganda (Buganda Statistics Unit).

(2) Ekitongole ky’okukulaakulanya eby’Enfuna

 

  1. i) Buganda esse omukago n’ebitongole eby’enjawulo mu kaweefube w’okukulaakulanya eby’enfuna mu Buganda muno nga mulimu; KCCA, Wells of Life ne Berkshire Foundation.

 

  1. ii) Waliwo ebitongole by’Obwakabaka ebirala ebyasaba obudduukirize okuva mu PSFU era nga byasobola okubufuna; muno mulimu Namulondo Investments.

(3) Ekitongole ky’Okusiga Ensimbi

 

Ekiwayi kya Minisitule kino kye kivunaanyizibwa ku makampuni g’Obwakabaka era kyasalibwawo waleme kubaawo makampuni mapya gaggulwawo wabula tunyweze amakadde ge tulinawo. Mu bingi ebikoleddwa Minisitule mu by’okusiga ensimbi kuliko:

 

  1. Twekobe eddaabiriziddwa n’ebibajje ne biteekebwamu ekitundu ekisooka.
  2. Butikkiro eddaabiriziddwa era ekitundu ekisooka kiwedde.
  • CBS okufuna ebyuuma bya Situdiyo ebipya.
  1. Omulimu gw’okuzimba Mirembe Villas e Kigo ekitundu ekisooka gwaggwa era ennyumba ezisooka ne zitongozebwa.

 

(4) Ekitongole ky’Eggwanika lya Buganda

 

  1. i) Kitadde mu nkola Embalirira y’Obwakabaka newankubadde wabaddewo okusoomoozebwa mu by’ensimbi.
  2. ii) Woofiisi za Baminisita n’abaweereza abalala zongedde okulongoosebwa n’okugulirwamu ebikozesebwa.

iii) Emisaala n’ensako eby’abaweereza ku mitendera egy’enjawulo bisasulwa mu kusoomoozebwa kw’ensimbi.

  1. Amabanja agaali gaasigala ku Bbuggwe e Kasubi gasasulwa. 
  1. g) Minisitule y’Olukiiko ne Kabineeti

 

Minisitule erina obuvunaanyizibwa obukulu obw’okukwanaganya emirimu gy’Olukiiko n’egya Kabineeti era mu byetuukiriza mu mwaka byebino wammanga:

 

(1) Olukiiko lwa Buganda

 

  • Enkiiko z’Olukiiko zituziddwa nga bwezasengekebwa era zijjmbiddwa nnyo mu mwaka 2017/2018.
  • Okuteekateeka Olusirika lwa bammemba b’Olukiiko.

(2) Kabineeti

 

  1. i) Ekisenge kya Kabineeti kiddabiriziddwa era ne mugulirwamu n’ebibajje ebipya era eby’omulembe.
  2. ii) Kabineeti etuula buli luvanyuma lwa wiiki bbiri. Mu ntuula zino enkola nnyingi eziyisiddwa era ne zigobererwa mu kaweefube w’okutereeza empeereza y’emirimu mu Bwakabaka. Ebintu bingi ebirabibwa ng’ebyobuwanguzi gye bisooka okufumbirwa.

iii) Okutegeka enteekateeka y’emikolo emikulu n’enkiiko mu Bwakabaka eya buli mwaka. Enteekateeka eno ewa ekifaananyi ekituufu eky’emirimu egikolebwa mu Bwakabaka.

  1. iv) Minisitule zonna zanjudde alipoota zaazo mu Kabineeti mu mwaka guno.
  2. v) Kabineeti yatandika enteekateeka y’okufuna Olusirika buli luvannyuma lwa myezi esatu okukubaganya ebirowoozo ku nsonga emu enkulu eri Obuganda era n’okusala amagezi engeri y’okujjaŋŋanga. Muno mulimu; ettaka n’ebirala.
  3. h) Minisitule y’Ebyettaka, Obulimi n’Obutonde Bwensi

 

Minisitule eno erina ebitongole bisatu era buli kitongole kisobodde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwakyo mu ngeri zino wammanga:

 

(1)         Ettaka

 

  1. i) Ekitongole kyongedde okupunta ab’ebibanja abawera n’okulabirira ettaka ly’Obwakabaka.
  2. ii) Okusolooza busuulu ku miwendo egiri mu mateeka ga Uganda kwatandika. Enkola eno esimbye amakanda okusinga mu byalo.

iii) Enkola ya “Kyapa mu Ngalo” yatandika. Newankubadde waaliwo okutaataaganyizibwa okuva mu bantu ab’enjawulo omuli n’abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati, tusobodde okuginnyikiza mu bantu nga tubasomesa.

 

Ekinnyonnyola Ekikoleddwa
Ekyaapa mu Ngalo 350
Ebyaapa ebikyakolebwako 1,000
Ettaka eripuntiddwa 3,470
Abebibanja abeewandiisizza 12,437

 

iii) Okumaliriza enteekateeka y’okuzimba amayumba e Ssentema ag’essente ensaamusaamu.

 

 

(2)         Obulimi

 

  1. i) Okunnyikizza enkola ya “Mmwaanyi Terimba” nga bagaba endokwa z’emmwaanyi wamu n’okulambula ennimiro gyezisimbibwa. Omwaka oguwedde 2017/2018, tusobodde okugaba endokwa z’emmwaanyi 3,168,670. Bwetegereza emyaka essatu egiyise, tusobodde okugaba endokwa z’emmwaanyi Obukadde Musanvu (7,000,000). Kale nno twagala okwebaza abanywaanyi aba UCDA betukolaganye ennyo okuggusa ensonga eno.

 

  1. ii) Okunnyikizza enkola y’okulima ebitooke.

 

(3)         Obutonde Bwensi

 

  1. i) Minisitule eyongedde okusomesa abantu ba Ssaabasajja ku nsonga z’Obutondebwensi n’enkola ey’okutobeka ensonga z’obutonde bwensi mu mirimu gy’abamasaza n’abakulu b’obusolya ng’Obwakabaka bukolagana ne Minisitule y’Amazzi n’Obutonde Bwensi mu Gavumenti ya Uganda.
  2. ii) Okuteekateeka omwoleso gw’obutonde bwensi ogusokedde ddala mu Buganda e Katabi, Entebbe.

 

  1. i) Minisitule ya Nkuluze

 

Emirimu egikolebwa Minisitule eno mingi era mikulu ddala naddala egyekuusa ku kulabirira embiri n’abo abazibeeramu. Kale nno mu mwaka endabirira y’Embiri eyongedde okulongooka.

  1. j) Minisitule y’Ebyobuwangwa, Ennono, Amasiro n’Obulambuzi

 

Minisitule eno ekoze emirimu egyenjawulo nga bwegirambikiddwa wammanga:

 

(1) Ebyobuwangwa, Ennono n’Amasiro

  1. i) Omulimu gw’okuzaawo Muzibu Azaala Mpanga gutambuziddwa era nga mu kiseera kino eddala liri mu kumalirizibwa.
  2. ii) Okuddaabiriza Twekobe kwakolebwa era mu kiseera kino tuli mu kuteekamu bibajje nga tuyita mu nkola Twekobe Ejjudde wansi w’Enteekateeka za Jubireewo 25 era akwasibwa Ssaabasajja nga 24 Kasambula 2018.

iii) Okuddaabiriza Butikkiro ekitundu ekisooka kuwedde era nga egenda kukwasibwa Katikkiro nga 28 Ssebaseka 2018.

(2) Ekitongole eky’Ebyobulambuzi

  1. i) Okumaliriza okuteekateeka ekitabo kya Minisitule eky’Ebyobulambuzi. Ekitabo kino kyatongozebwa Sssaabasajja era kimaze okukubibwa mu kyaapa.
  2. ii) Okumaliriza enteekateeka ezigunjaawo emikululo (trails) eginatumbula obulambuzi bw’eka (Domestic Tourism). Mu gino mulimu “The Heritage Trail – Omukululo gw’Ennono” ne “Religious Trail – Omukululo gw’Eddiini”. Mu mukululo gw’Ediini, twesigama ku mazima nti Eddiini engwira zaava ku Ssekabaka Muteesa I era tukolaganye n’Ebitebe by’enzikiriza ez’enjawulo mukukwataganya ensonga eno.

iii)   Okuteekateeka omwoleso gw’Ebyobulambuzi 2017

  1. iv) Okukola ebibumbe by’ebika ku luguudo Kabaka Anjagala nga ebibumbe 12 ebisooka byawadde era Ssaabasajja nabitongooza.

 

 

  1. k) Minisitule y’Amawulire, n’Abagenyi

 

Minisitule esobodde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo mu ngeri zino wammanga:

 

(1)         Ebyamawulire

Minisitule esobodde okutuusa ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka amawulire agafa mu Bwakabaka ng’eyita mu makubo ag’enjawulo nga: pulogulaamu agafa e Mengo buli lwa Sande, omutimbagano, Gambuuze.ug, Facebook ne Twitter. Mu kiseera kino tulina abagoberera emikutu gino abasukka mu 100,000.

 

(2)         Ekitongole ky’Abagenyi

  1. i) Minisitule esobodde okwenyigira mu nteekateeka y’emikolo gy’Obwakabaka egy’enjawulo era nga abagenyi ba Ssaabasajja bakwatibwa bulungi.
  2. ii) Engendo z’ebweru wa Uganda ez’abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda ku mitendera egy’enjawulo zikwasaganyiziddwa bulungi era batambulira mu kitiibwa ekisaanidde.

iii)     Okuteekateeka omusomo mu bya PULOTOKO eri aba bonna abavunaanyizibwa ku nsonga z’abagenyi mu Bwakabaka.

 

  1. l) Minisitule y’Obusuubuzi, Obutale n’Obwegassi

 

Minisitule etuukirizza obuvunaanyizibwa bwayo mu ngeri zino wammanga:

 

  1. i) Minisitule egaziyizza ennimiro z’abalimi ng’eyita mu nteekateeka yaayo ey’okulimira abantu ba Ssaabasajja ne tulakita mu masaza ag’enjawulo.
  2. ii) Okuwa abeegassi amagezi ku nkola ey’obwegassi n’emiganyulo egirimu nga Minisitule eyita mu misomo gy’obwegassi.

 

Ekinnyonnyola Omuwendo Amasaza
Yiika z’ennimiro ezirimuddwa ne Tulakita mu mwaka 595 Buddu ne Mawokota
Ebibiina by’Obwegassi ebigannyuddwa 16 Buddu (14), Mawokota (2)
Ebibiina by’Abavubuka ebiguliddwa ettaka (yiika 2) 1 Kooki – Lwanda Coffee Farmers Association

 

 

Nga nkyali ku bwegasi; CBS POWESA ekutennyo akati mu kulalakulanya abantu ba Ssabaasajja n’okubawagira mukutereka, okwewoola ate n’obutale wamu nemisomo. Tewbaza nnyo abigikulembera olwo bitukiddwako.

 

  1. m) Minisitule y’Ebyobulamu

 

Minisitule y’Ebyobulamu ekoze emirimu emirungi era erina n’ebirala bingi byeteekateeka okuggusa. Mu bufunze ebituukiddwako bye bino:

 

  1. i) Eddwaliro eritambulira ku mipiira lyatuuka era mu kiseera kino liteekebwateekebwa litandike okukola nga Ssaabasajja amaze okulitongoza.
  2. ii) Okuteekateeka ensiisira z’ebyobulamu mu masaza ag’enjawulo mwe bafunidde obujjanjabi obw’endwadde ez’enjawulo.

iii) Okunyikiza kaweefube w’okulwanyisa akawuka ku mukenenya.

  1. iv) Okugaba obutimba bw’ensiri mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.
  2. Minisitule ennyikizza emikago ne Minisitule y’Ebyobulamu mu Gavumenti eyawakati, Joint Clinic Research Centre n’ekitongole kya UNAIDS mu kaweefube w’okutuusa obujjanjabi obwenjawulo ku bantu ba Ssaabasajja.

 

  1. n) Minisitule y’Abakyala, Bulungibwansi, Ekikula ky’Abantu n’Okulambula kwa Kabaka

 

Ebituukiddwako mu kitongole kya Minisitule kino kuliko:

  1. i) Okutumbula embeera y’abakyala mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu. Minisitule eyise mu makubo ag’enjawulo okuli: emisomo gy’enkulaakulana n’okulondoola obukulembeze bw’abakyala.
  2. ii) Okuteekateeka entujjo y’emikolo gy’okukuza olunaku lw’Abakyala era Olusirika lw’Abakyala mu Buganda lwaggalwaawo Ssabasajja songa entikko y’emikolo yali mu Ssaza lye Kyaddondo e Kasangati. Maama Nnaabagereka ye yali omugenyi omukulu era tumwebaza nnyo olw’okuwoma omutwe bulijjo mu kaweefube w’okusitula embeera z’abakyala mu Buganda.

 

iii)  Okunyikiza enkola ey’abantu okulongoosa ebitundu byabwe gye babeera nga Minisitule eyita mu misomo gya Bulungibwansi mu masaza ga Buganda n’ebweru wa Buganda mu Uganda; okusimba emiti era entikko ya kaweefube ono gye mikolo gya Bulungibwansi egitegekebwa Minisitule buli mwaka n’ekigendererwa eky’okujjukiza abantu ba Ssaabasajja obuvunaanyizibwa bwabwe nga mu mwaka guno gyaali mu Ssaza lye Kyaddondo.

(o) Minisitule y’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuza

 

Ebituukiddwako mu kitongole kya Minisitule kino kuliko:

 

1)  Ekitongole ky’Abavubuka

  1. i) Ekitongole kyawandiisa “Principal Youth Officer” nga ono yavunaanyizibwa ku nsonga z’abavukuka mu Minisitule.
  2. ii)   Minisitule yafuna emotoka ya Ekitongole ky’Abavubuka

iii) Minisitule ekoze kinene okuzimba obukulembeze mu bibiina by’Abavubuka nga kati birina abakulembeze ab’empisa, era abawulirize eri Obwakabaka.

  1. iv) Okuteekateeka Olunaku lw’Abavubuka (Buganda Youth Day) olwa buli mwaka ne lwetabwamu abavubuka okuva mu masomero, amatendekero, ebibiina byonna n’abantu okuva mu masaza ag’enjawulo.   Ku mukolo guno abavubuka bakuŋŋaanira mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka ne bafuna okulu ŋŋamizibwa nga Ssaabasajja ali ku Namulondo.
  2. iv) Okuteekateeka Olusirika lw’Abavubuka olwa buli mwaka.

 

2)  Ebyemizannyo

(i)  Okuzimba, okuteekateeka emizannya egy’enjawulo n’okusitula omutindo gw’emizannyo mu Bwakabaka nga bayita mu nkiiko ez’enjawulo eziteekeddwawo. Muno mulimu Emipiira gy’Amasaza, Ebika n’egy’Amasomero, Emisinde mubunabyalo, ekiggwo, omweso, okuwugga, squash, obugaali ne golf.

(ii) Okuteekateeka emisinde mubunabyalo olw’okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka buli mwaka abantu abassuka 30,000 mwe betaaba mu nteekateeka ey’omwaka 2018. Ne ku mulundi guno Ssabassajja Kabaka yasiima amaanyi gaffe tugazze mu kulwanyisa obulwadde bwa Nnalubiri.

  • Enteekateeka Nnamutaayiika ey’omupiira gwonna ogw’Obwakabaka – ey’emyaka ena (2017 – 2020) yamalirizibwa era netongozebwa.
  • Okumaliriza enteekateeka z’okuzimba ekisaawo ky’omupiira e Lugazi nga tukolaganira wamu ne FUFA.
  1. p) Ekitongole ky’Okunoonyereza

 

(i)  Omulimu gw’okunoonyereza n’okukwata olutambi ku bulamu bwa Ssaabasajja gugenda mu maaso era gunaatera okumalirizibwa.

(ii) Okukungaanya ebiwandiiko n’ebifaananyi ebikwata ku byafaayo by’Obwakabaka kugenda mu maaso.

  • Minisitule yatandika ku mulima gwokufuna ebifaananyi bya Bassekabaka ba Buganda. Muno mulimu n’okubisiiga.
  • Okuteekateeka omwoleso gw’Ebitabo (Book Fair Week)

 

E: Ebimu ku bikulu ebitakoleddwa mu mwaka 2017/2018 nga byali tubikkiriziganyizaako

 

  1. Mukama wange Sipiika, ebimu ku byetwateekateeka okukola naye nga tetusobodde mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 bye bino wammanga wabula nga tubyongeddeyo mu mwaka gw’ebyensimbi 2018/2019:

 

  • Okugula Ambyulensi yo ku mazzi
  • Okugula emotoka etambuza Bajjajja Abataka
  • Okumaliriza okuzimba Olusaka lwa Nnamasole e Bbumbu, Kiteezi
  • Okutandika ku kuzimba ekizimbe ku Muteesa I Royal University
  • Okuzimba ekizimbe ky’Ebyobusuuzi ku Ggombolola e Makindye
  • Okuwandisa Woofiisi za bannamateeka ez’Obwakabaka (Law Chambers)
  • Okumaliriza okukola Enteekateeka Nnamulanda wamu n’Ennambika (policy) ey’Abavubuka
  • Okumaliriza omulimu gw’Okuteekateeka “master Plan” y’Okukulaakulanya Ennyanja ya Kabaka

 

Ebyo byonna ebitaatuukirizibwa twayayaanira nnyo okubikolako olw’obukulu bwabyo naye ensonga ze nayanjudde waggulu ne zitulobera. E bisinga bizze mu mbalirira eno.

 

Ennyingiza n’Ensaasanya 2017/2018

 

Omweso 1: Ennyingiza nga bwebadde mu mwaka 2017/2018

 

OBWAKABAKA BWA BUGANDA
Alipoota y’Ennyingiza ey’Omwaka 2017/2018
Ennyingiza 2017/2018 Buli kikumi
Amakubo agavamu ensimbi Ezaabalirirwa Ezaafunibwa
Envujjo, Busuulu ne Kkanzu ku Ttaka     20,441,094,560 18,082,000,000 88%
Ensimbi ezibbanjibwa okuva mu Gavumenti eyawakati      2,400,000,000 –   0%
Ebisale okuva mu bayizi     16,517,161,951 13,053,003,919 79%
Obusuulu okuva mu bizimbe        3,519,656,800 2,713,507,216 77%
Ekimu ku kikumi okuva mu bawereza          162,585,386 71,213,335 44%
Abaanywanyi ne bannamikago      5,965,640,000 9,754,664,000 164%
Eby’emizannyo,        1,027,000,000 1,049,800,000 102%
Satifikeeti, ebbaluwa n’ebifananyi ebw’Obwakabaka          933,154,920 491,360,000 53%
Ekyokunywa kya Ngule      1,100,000,000 365,503,018 33%
Abantu ba Buganda ebweru wa Buganda          584,000,000 565,268,000 97%
Emikutu gy’Eby’empuliziganya na mawulire    15,371,225,457 11,258,223,500 73%
Eby’obulambuzi          946,916,000 481,176,856 51%
Ettoffaali            50,000,000 2,000,000 4%
Ebibina by’Obwegassi (Cooperatives)        2,934,850,000 2,553,319,500 87%
Ensimbi ezinakunganyizibwa mu Masaza          900,000,000 1,537,818,758 171%
Ensimbi Eggwanika lye zibanja          600,200,000 106,647,272 18%
Omugatte ogwennyingiza ogwawamu     73,453,485,074 62,085,505,374 85%

 

 

Omweeso 2: Ensaasanya nga bwebadde mu mwaka 2017/2018

 

OBWAKABAKA BWA BUGANDA
Alipoota y’Ensaasaanya ey’Omwaka 2017/2018
Ensaasanya ( Enkozesa) 2017/2018 Buli kikumi
Ekisasanyizibwaako Ezaabalirirwa Ensaasanya
Okuddukanya emirimu mu Nkuluze        8,600,000,000        7,500,000,000 87%
Okulabirira Twekobe ne woofiisi ya Ssaabasaajja Kabaka        281,729,600        197,779,600 70%
Ebyokulabirira ettaka ( Buganda Land Board )        7,988,995,432        6,500,000,000 81%
Okwekulaakulanya n’okusiga ensimbi        2,822,171,600        7,134,016,320 253%
Ensaasanya ku satifiiketi / Ngule        400,000,000        483,001,509 121%
Okutumbula Ebyenjigiriza mu Buganda     16,685,783,953 12,967,029,860 78%
Eby’emizannyo, Abavuka n’Okwewumuzamu      1,346,000,000        580,320,000 43%
Okugaggawaza n’okusitula omutindo gw’abantu (Obwegassi)      1,802,050,000      1,559,940,000 87%
Eby’obulimi n’Obutonde bwensi        2,860,787,400        2,024,162,000 71%
Okuluŋŋamya Obukulembeze mu Bika        275,920,000        101,500,000 37%
Eby’obulambuzi        646,684,000      1,719,773,567 266%
Ebyempuliziganya     15,371,225,457     12,341,416,196 80%
Abawereza wamu n’okuddukanya emirimu  
Abawereza      1,535,410,693      1,246,528,707 81%
       
Okugulawo Chember za banamateka ba Buganda          20,200,000            1,750,000 9%
       
Omugatte ogw’Ensaasanya ogwawamu    74,714,158,005    62,729,814,447 84%

 

F: Embalirira y’omwaka 2018/2019

 

Ennyanjula

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, obwedda bwonna, mpoza olutabaalo lw’omwaka 2017/2018. Nzikkiriza mu kiseera kino ate ntandike okulambika biki ebitwolekedde mu mwaka gw’ebyensimbi 2018/2019.

 

Omulamwa gw’omwaka guno gugenda kubeera: “Okunnyikiza, Okunyweza n’Okutumbula ebyo byetulinamu enkizo”

 

Ebyenfuna by’Eggwanga Uganda 2018/19

 

  1. Mukama wange Sipiika, ebyenfuna mu ggwanga byakulira ku bitundu 5.5% mu mwaka 2017/18. Mu ngeri y’emu, mu mwaka 2018/19, bisuubirwa okukulira ku bitundu 6% naddala singa tewabeerawo kutataaganyizibwa mu mbeera y’obudde wamu n’ensiga y’ensimbi mu ggwanga. Esuubi eririwo lyesigamiziddwa ku makungula amalungi naddala kubanga kisuubirwa nti embeera y’obudde egya kubeera nnungi.

 

  1. Waliwo essuubi nti ebyettunzi byaffe ebweru w’eggwanga binaayongera okwettanirwa songa n’ebyo ebigulibwa ebweru ne biyingizibwa mu ggwanga byakweyongera naddala olw’enteekateeka za Gavumenti eya wakati okuteeka mu nkola pulojekiti ez’enjawulo omuli okumaliriza okuzimba; amabibiro g’amasanyalaze n’enguudo (naddala mu bitundu ebyazuulibwamu amafuta) newankubadde okuzimba omudumu ogutambuza amafuta kisuubirwa obutatandika mu budde.

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, newankubadde ebyo biri bwe bityo, essuubi lyaffe lyonna lyesigamiziddwa ku mbeera y’obudde ennungi, wamu ne Gavumenti eya wakati okusobola okutuukiriza pulojekiti ez’enjawulo zeteeseteese era nga n’ensolooza y’omusolo n’enkozesa yaagwo birina kinene kye binaayamba eggwanga yaffe. Awatali ekyo enteekateeka ez’enjawulo ziyinza okufa ettoge.

 

  1. Tetuyinza kwerabira nti eggwanga lyaffe lyesigamye nnyo ku nsuubulagana n’amawanga; Congo (DRC) n’Obukiika kkono bwa Sudan. Amawanga gano gakyalimu obutabanguko. Kino nno kisuubirwa okukosa ebyettunzi byaffe mu mawanga gano. Ekinava mu kino be banoonyi b’obubuddamu okweyongera mu ggwanga lyaffe ekizze kikosa ennyo engeri abantu baffe gyebatuusibwaako byebetaaga mu bulamu wamu n’obukuubagano n’abanoonyi b’obubuddamu. Naye era nga omulungi bwatabulako kamogo, okusaasanya kw’abanoonyi b’obubuddamu kuyamba mu ngeri emu oba endala.

 

 

  1. Eggwanga Uganda lyesigamye nnyo ku by’obulimi n’obulunzi wabula ekikwaasa ennaku, kwe kuba nga tetukoze kimala nga eggwanga okutumbula ensonga eno.

 

  1. Eggwanga lyaffe lirina embeera y’obudde emu ku ezo esinga okubeera ennungi naye kyennyamiza nti mu nsi ezitwetolodde ffe tusinga obutakozesa tekinologiya ate nga bikozesebwa ebirala mu bulimi n’obulunzi eby’omutindo tetubyettanidde nnyo. Eri abo abagezezzaako okukozesa ennima ey’omulembe, ebbeeyi y’ebikozesebwa eri waggulu nnyo. Mu kiseera kino waliwo enteekateeka ekolebwa okulaba nga abalimi n’abalunzi batuusibwaako ebikozesebwa mu nkola ey’okubipangisa.

 

  1. Okunoonyereza kulaze nti ebitundu 13% byokka ebyennimiro z’abantu baffe mu Uganda bebakozesa ensigo ennongoseemu. Ebisinze okuleeta embeera eno kwe kubeera nga tulemereddwa ng’eggwanga okukola n’okuteeka mu nkola amateeka agaluŋŋamya enkozesa wamu n’okukuuma omutindo gw’ebikozesebwa mu kulima n’obulunzi. Okulwawo okuyita amateeka agafuga eby’ensigo wamu n’ebigimusa bye bimu ku bisinze okumalamu abalimi amaanyi kubanga bangi bafiriziddwa.

 

  1. Mukama wange Sipiika, tekikkirizika naye Uganda lye limu ku mawanga agatettanidde nnyo kukozesa bigimusa. Abalimi baffe ebitundu 2% bokka be bakozesa ebigimusa ebitali byanakavundira era nga kino kisangiddwa ku nnimiro ezo ennene ddala okulimirwa ebimera ebyettunzi. Mu Uganda ffe tutalina mateeka gafuga ebikozesebwa mu bulimi wamu n’obulunzi nga agaluŋŋamya eby’ensigo n’ebimera, eddagala erikozesebwa mu kulima n’obulunzi, wamu n’okukuuma ebimera byaffe n’obulamu bw’ebimera.

 

 

  1. Nga mpumbawumba ku nsonga eno, kiteberezebwa nti ebitundu 30% eby’amakungula g’omulimi n’omulunzi byononeka olwebbula ly’amasitowa mwe bukumirwa. Ebiseera ebisinga abalimi n’abalunzi baffe besanga banguyiriza okutunda ebikunguddwa ku bbeeyi eya wansi. Mu mbeera eno, kyetaagisa okwongera amaanyi mu nkola y’okutereka amakungula mu masitowa ag’olukale eri omulimi ssekinoomu n’eri abo abegasse awamu.

Embalirira y’Eggwanga Uganda 2018/19

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, Embalirira ya Gavumenti eyawakati eyayanjulirwa banna Uganda ey’omwaka 2018/2019, ya Obutabalika Ushs. 32.702 era nga ebitundutundu 50% bye byokka ebisuubirwa okukuŋŋanyizibwa mu bannayuganda. Ensimbi ezisinga ezisigaddeyo za kuva mu kwewola (mu ggwanga n’ebweru) wamu n’abagabi b’obuyambi.

 

Naye era obutabalika Ushs. 16.359 okuva mu bannayuganda nga obutabalika Ushs. 15.93 ziva mu misolo gye basasula sikya mannyo wenu. Gavumenti ya wakati eteeseteese okugaziya ebisoloozebwamu emisolo era nga newankubadde okuwa omusolo si kibi naye twesibe bbiri.

Ebimu ebikyuse mu misolo

 

  1. Mukama wange Sipiika, bingi ebyayanjuddwa eri eggwanga ku nsonga y’emisolo. Mu kiseera kino kkiriza nokoleyo ebimu ku ebyo byendowooza nti byankizo nnyo era bye bino wammanga:

 

  • Eri abo abeewola okuzimba amayumba agapangisibwa naddala nga beewola kugula oba okuzimba amayumba nga gakupangisa, amagoba gebasasula ku nsimbi zebewoze zijja kumala kutolebwaako ku nsimbi ezikoleddwa olwo nno balyoke basasule omusolo ku nsimbi eziba zisigaddewo.

 

  • Eri omuwi w’omusolo nga abadde takola magoba okumala emyaks musanvu (7) egiddiriŋŋana, bajja kusasulanga omusolo ku bitundu 0.5% ku nsimbi zonna ezikoleddwa buli mwaka oguddirira oluvannyuma lw’emyaka musanvu (7) mwatakolera magoba. Kino nno kigendereddwamu okutangira abawi b’omusolo naddala abasubuzi okwewala okuwa omusolo nga bekwaasa obutakola magoba mu mirimu gyabwe. Obulabe obukirimu nti eri abo abasubuzi ddala abafirizibwa mu mirimu gyabwe naddala abo abatandikawo emirimu egitwala ebbanga eddene okukola amagoba nabo kibatwaliramu.

 

  • Omuntu yenna asasula omuntu amuguzizza ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi ebisukka Ushs. 1m/= ateekeddwa okumusalako omusolo (withholding tax) gwa bitundu 1%. Kino nno kirungi kubanga bulijjo ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi bibadde batwalibwa wamu n’ebyamaguzi ebirala byonna kale nga omusolo obusalibwako asasula (withholding tax) gubadde ebitundu 6%.

 

  • Omusolo gwa bitundu 10% (withholding tax) guteekeddwa ku ba “agent” ba “mobile money” ku nsimbi ezibasasulwa okuva mu makampuni g’amassimu olw’okukola omulimu gwa “mobile money”. Omusolo guno gwankomeredde era nga agusalibwaako tayinza kulaga nti yasasula ku musolo ku nkomerero y’omwaka.

 

  • Ebibiina bya SACCO ebyaali bisuubiziddwa okusonyiyibwa omusolo ku magoba okumala emyaka 10 (okuva mu 2017 okutuuka 2027), kino kyasaziddwaamu era kati amagoba agakolebwa SACCO gakujjibwaako omusolo. Kino kitegeeza SACCO ziyinza okusanga obuzibu okufuna ensimbi zebawola bammemba ezimala kubanga okusinga SACCO zibadde zizaamu amagoba ne gakozesebwa okuwola bammemba baazo.

Ebiyitiddwamu nga tuteekateeka Embalirira y’Obwakabaka – 2018/2019

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, nga tuteekateeka Embalirira 2018 – 2019, tufubye okulaba nga buli kitongole ky’Obwakabaka kyennyigira mu kukola Embalirira ono. Ezimu ku nteekateeka eziyitiddwaamu ze zino wammanga wamu n’ezo ezikyagenda mu maaso:

 

  • Eggwanika okukuŋŋanya alipoota ku ntambuza y’Embalirira 2017/2018 wamu n’ebirowoozo ku Embalirira 2018/2019 okuva mu minisitule ne bitongole ebyenjawulo.
  • Ttimu ye Ggwanika okuyita mu draft y’Embalirira 2018/2019
  • Akakiiko k’Ebyensimbi ak’Obwakabaka okuyita mu bbago ly’Embalirira 2018/2019
  • Okuwereza Ebbago ly’embalirira ey’Omwaka 2018/2019 ewa Ssaabasajja Kabaka
  • Okusisinkana Akakiiko k’Olukiiko lwa Buganda akoku Ntikko okwanjula Ebbago ly’Embalirira 2018/2019
  • Okwanjulira Kabineti Ebbago ly’Embalirira ey’Omwaka 2018/2019
  • Okutuuza Obukiiko bw’Olukiiko okuteesa ku Mbalirira
  • Okutuuza Akakiiko k’Olukiiko ak’oku Ntikko okuyisa embalirira
  • Okwanjulira Kabineeti Embalirira (Final Draft) 2018/2019
  • Okusoma n’Okuyisa Embalirira 2018/2019 mu Lukiiko lwa Buganda.

 

Embalirira y’Obwakabaka ey’Omwaka 2018/2019

 

  1. Mukama wange Sipiika, mu mwaka gw’ebyensimbi 2018/2019, tusuubira okuyingiza Ushs. 96,047,937,813/= okuva ku Ushs 62,459,879,374/= ezayingizibwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018. Bino bye bitundu 35% ennyingiza by’ebisuubirwa okulinnya. Ensaasanya y’Obwakabaka nayo esuubirwa okulinnya era nga ejja kuva ku Ushs. 61,382,154,327/= okutuuka ku Ushs. 95,893,855,284/= nga bino bye bitundu 36% eby’ensaasanya eneyongeramu.

 

  1. Ensimbi zino zonna zisuubirwa okuva mu makubo ge gamu getwateekawo okuyamba okuyingiza ensimbi mu Ggwanika Lya Buganda. Mu ngeri yeemu, tusuubira nti ku luno Gavumenti eya wakati eneebaako ensimbi zetusasula ku nsimbi ennyingi zetugibanja eziri eyo mu Buwumbi 172.

 

Eby’enkizo mu Mbalirira y’ Obwakabaka 2018/2019

 

  1. Wammanga byebimu ku bigenda okuteekebwaako ennyo essira mu mwaka 2018/2019:

 

  1. Okusereka Muzibu Azaala Mpanga
  2. Okwongera amaanyi mu ndabirira ya Nnamulondo wamu n’okulaba nga Twekobe Ssaabasajja agyettanira.
  3. Okwongera amaanyi mu “Mmwaanyi Terimba”
  4. Okwongera amaanyi mu kulima emmere mu Buganda naddala; ebitooke, Muwogo ne Lumonde
  5. Okukwanaganya enkola etumbula eby’obulunzi mu Buganda.
  6. Okufuula embuga z’obwakabaka naddala Amasaza n’Amagombolola ebifo eby’okwekulaakulanya nga; tutandikawo obutale obwannalubabwe, okutegekerawo emisomo wamu n’okukwanaganya ebyensimbi.
  7. Okukulaakulanya Embuga ye Gombolola ya Makindye nga tuzimbawo ekizimbe eky’obusubuzi
  8. Okutandikawo enkola ya “Tubeere Balamu” eya yinsuwa mu Bwakabaka
  9. Okutandikawo enkola ya “Weerinde” eya yinsuwa y’ebyobusuubuzi
  10. Okutandika Ekitongole kya Buganda eky’Emiwendo
  11. Okukulaakulanya ebibiina by’abavubuka mu byaalo bifuuke eby’okwekulaakulanya.
  12. Okutandikawo enkola ebunyisa ebikozesebwa mu kulima n’okulunda eby’omutindo mu Buganda nga Obwakabaka bukiwomamu omutwe.
  13. Okwongera okutereza amayengo ga CBS mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.
  14. Okuwagira emirimu gy’Ekisaakaate kya Nnabagereka nga tukolaganira wamu ne Minisitule y’Abakyala n’Abaana e Mmengo.
  15. Okwongera amaanyi mu kibiina kya Buganda Examination Council okulaba nga ebigezo byekiteekateeka bukolebwa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo okusobola okutumbula eby’enjigiriza mu Buganda.

 Ebimu ku binaakolebwa nga byesigamiziddwa ku Nnamutaayiika 2018 – 2023

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, Mu kiseera kino nzikkiriza nnyanjule byetuteeseteese okukola mu mwaka gw’ebyensimbi 2018/19 nga byesigamiziddwa ku Nnamutaayiika 2018 – 2023 wamu n’ensimbi ezibaliriddwa okutusobozesa okutuukiriza emirimu gino.
  2. Mukama wange Sipiika, nga tuteekateeka Nnamutaayiika 2018 – 2023, twalambika eby’okukola bya mirundi ebiri:
  3. Ebyasoosowazibwa ebinaakolebwa mu mwaka ogusooka
  4. Ebyasoosowazibwa ebinaakolebwa wakati w’emyaka ebiri okutuuka ku myaka 5 egya Nnamutaayiika

 

Ebisoosoowaziddwa ebinaakolebwa mu mwaka 2018/19 nga bye bimu ku ebyo ebyasoosoowazibwa mu mwaka ogusooka ogwa Nnamutaayiika 2018 – 2023

 

  1. Mukama wange Sipiika wamu n’abakiise b’Olukiiko, nzikiriza nokoleyo ebimu kwebyo byetuteeseteese okukola mu mwaka 2018/19 era nga bigendereddwamu okutuukiriza ebyo eby’enkizo ebirambikiddwa waggulu:

 

Ensonga Ssemasonga 1:   Okunyweza, Okukuuma n’Okutaasa Nnamulondo

Ekiruubirirwa 1: Nkuluze okutuukiriza emirimu n’obuvunaanyizibwa

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Tugenda kwongera amaanyi mu ndabirira ya Nnamulondo wamu n’emirimu emirala nga bwegiragiddwa wammanga
  • Okumaliriza omulimu gw’Eddaali mu Muzibu Azaala Mpanga mu myezi nga esatu (3)
  • Okusereka Muzibu Azaala Mpanga
  • Okuddaabiriza Twekobe
Okuddukanya emirimu mu Nkuluze 8,571,729,600
Okusereka Muzibu Azaala Mpanga 1,200,000,000
Okuddaabiriza Twekobe 450,000,000

 

 

Ekiruubirirwa 2: Okulaba ng’ekifo kya Ssaabasajja Kabaka mu Ssemateeka w’eggwanga kikuumibwa bulungi.                          

 

Ek(b)inaakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Tujja kwongera okuteekateeka emikolo egy’enjawulo Ssaabasajja Kabaka kwanalambuliranga abantu be mu Bwakabaka bwe nga tewali amukuba ku mukono
  • Okwongera amaanyi mu by’empuliziganya wamu n’okukwasaganya eby’amawulire n’ekigendererwa okyokukattiriza ekifo bya Ssaabasajja
Emikolo n’Enkiiko z’Obwakabaka 902,088,000
Eby’empulizigannya 12,477,263,209

 

 

Ekiruubirirwa 3: Okukuuma n’okunyweza obuwangwa, ennono n’olulimi Oluganda

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

Okunoonyereza ku Buwangwa wamu n’Ennono:

  • Okumaliriza omulimu gw’okunoonyereza ku bulamu bwa Ssaabasajja okuviira ddala mu butobwe okutuuka kati.
  • Okukola ekisenge omukolebwa okunoonyereza (Research Library) era nga kino kijja kuyamba abo bonna abanoonyereza ku Bwakabaka ba Buganda okufuna amawulire amatuufu.
  • Okwongera okukola okunoonyereza ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku nnono n’obuwangwa bwaffe.
  • Okuwagira emirimu gy’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda
  • Okuzimba ennyumba ez’ennono
Okunoonyereza 103,000,000
Emirimu gy’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda 23,200,000
Eby’Obuwangwa n’Ennono 102,700,000

 

 

 

 

Ekiruubirirwa 4: Okuddaabiriza amasiro amalala n’ebifo ebyennono.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

Mu bigenda okukolebwa, mulimu:

  • Okukola ku murimu gw’okuddaabariza Amasiro ge Wamala
  • Okumaliriza Olusaka lwa Nnamasole e Bbumbu
  • Okuddaabiriza ennyumba ya Lubuga e Kaliiti
  • Okutandika ku mulimu gw’okuddaabiriza Olubiri lwa Mujaguzo e Kabowa
  • Okuzimba Bbuggwe ku Nakibuuka e Nnaggalabi
  • Okutandika ku mulimi gw’okuzimba olubiri lwa Katebe
Okumaliriza amasiro ge wamala    100,000,000
Okumaliriza Olusaka lwa Nnamasole e Bumbu 200,000,000
Ennyumba ya Lubuga e Kaliiti    11,000,000
Mujaguzo e Kabowa 100,000,000
Naggalabi Buddo – Bbuggwe ku Nakibuuka    80,000,000
Ebikolebwa ebirala byonna    15,000,000
Olubiri lwa Katebe 50,000,000
Okununula Ennyanja Mutukula 100,000,000
Akakiiko akalondoola ebifo ebikulu eby’enkizo eby’Ennono 10,000,000
Omugatte 666,000,000

 

Ekiruubirirwa 5: Okuluŋŋamya obukulembeze mu Bika n’okuteekawo emirimu gy’okwekulaakulanya   

 

Ek(b)inaakolebwa mu mwaka 2018/19:

Okuluŋŋamya Obukulembeze mu Bika tujja kukola bino:

  • Okuggusa ensonga y’okuwandiisa abayima mu bika
  • Okugula entambula y’abajjajja abataka abakulu b’ebika
  • Okuwagira Omukubiriza n’Olukiiko olukulembeze olw’Abataka
  • Okuteekateeka Olusirika lw’Abataka
Okuluŋŋamya Obukulembeze mu Bika 261,700,000

 

 

Ensonga Ssemasonga 2:   Okugabana obuyinza mu nkola eya Federo

 

Ekiruubirirwa 6: Okugabana obuyinza (Federo) mu nkola ey’obwenkyanya n’obwesimbu mu by’enfuga n’obukulembeze bwa bantu mu ggwanga wamu n’okunyweza n’okuteereza enzirukanya ye mirimu mu gavumenti z’Ebitundu (amasaza n’Amagombolola)

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

Gavument ez’ebitundu
Okutegeka Olusisika lw’abaami abamasaza        23,450,000
Emisomo ku nkola ey’omulembe omuggya          8,100,000
Okukubisa ekitabo ky’obukulembeze (5000*5000)        23,000,000
Okuteekateeka olukiiko lwa b’amasaza ne minister wa gavument ezebitundu          1,600,000
Okuteekateeka olukiiko lwa Katikkiro n’amasaza          1,600,000
Okusala empaka z’enkola ye mirimu mu masaza        10,000,000
Okusala empaka z’omulimi / Omulunzi asinze okwerwanako        10,000,000
Okuteekateeka olukiiko lwa minisita n’abamagombola          5,600,000
Entambula za minisita mu buli ssaza (18*200,000/=)          4,800,000
Enkiiko z’abamasaza          2,400,000
Okulondoola emirimo egikolebwa mu masaza ( projects)        36,000,000
Okuddukanya emirimu mu Masaza 1,745,861,100
Omugatte    1,872,411,100

 

 

Ensonga Ssemasonga 3: Okukuuma Ettaka, Ebyaffe n’Okunyweza Ensalo za Buganda

Ekiruubirirwa 7: Okukuuma n’okukulaakulanya ettaka lya Buganda awamu n’ebyobugagga eby’ensibo n’ebizimbe.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

Tuteeseteese okwongera okunnyikiza n’okusomesa ku tteeka erikwata ku lukusa absenze lwebateekwa okufuna okuva ewa Nannyini ttaka nga tebanatunda oba okugaba ettaka. Mu birala muli:

  • Okulabirira ettaka nga tuwandiisa abasenze, okugaba kyapa mu ngalo, okupunta ettaka ly’Obwakabaka eryenjawulo
  • Okutandika ku kuzimba amayumba e Ssentema
  • Okuddabiriza n’okuddukanya ebizimbe by’Obwakabaka eby’enjawulo
  • Okukulaakulanya Embuga ye Gombolola ya Makindye nga tuzimbawo ekizimbe eky’obusubuuzi
Okulabirira ettaka 8,500,000,000
Okuddabiriza n’okuddukanya ebizimbe by’Obwakabaka 3,803,418,659

 

 

Ensonga Ssemasonga 4: Okukola obutaweera okuddaabulula ebyenfuna bya Buganda n’okusitula omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo nga tutumbula eby’obulamu, eby’enfuna n’ebyenjigiriza

 

Ekiruubirirwa 8: Okutandikawo   emirimu gy’okwekulaakulanya n’okusiga ensimbi eginaayamba okugaziya ennyingiza, okuyimirizaawo Obwakabaka n’okutondawo emirimu eri abantu ba Buganda wamu n’okubakulaakulanya.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okutandika ku nteekateeka z’okutandikawo Buganda Coffee Marketing Board
  • Okutandikawo enkola ya “Tubeere Balamu” eya yinsuwa mu Bwakabaka
  • Okutandikawo enkola ya “Weerinde” eya yinsuwa y’ebyobusubuzi
  • Okutandikawo enkola ya “Kitavvu” kya Buganda
  • Okumaliriza enkola ya Sementi Kalibobbo ne Amazzi ga Lwendo
  • Okutandika Ekitongole kya Buganda eky’Emiwendo
  • Okuzimba ekisaawe ky’Omupiira e Lugazi
  • Okumaliriza omulimu gwa “Master Plan” y’Olubiri

 

Okwekulaakulanya n’okusiga ensimbi
Okukola ekisenge ky’amawulire ( Press Room)        150,000,000
Okutandika Ekittavu kya Buganda (Mengo Finance Company )    1,000,000,000
Okutandika Werinde (Buganda Insurance Company )    5,000,000,000
Okutandikawo Tubere balamu mass life Insurance    3,000,000,000
Okwongera amanyi mu by’okusaasanya amawulire        547,000,000
Enzirukunya y’emirimu mu kusiga ensimbi ( BICUL)        222,500,000
Okuteekateeka eby’okusiga mu ensimbi 454,979,200
Okuwagira emirimu gyebitongole bw’Obwakabaka    2,271,008,709
Okuzimba ebizimbe e Kiggo    5,550,000,000
Okuzimba ekisawe ky’Omupiira enjeru    2,000,000,000
Omugatte 20,195,487,909

 

 

Ekiruubirirwa 9: Okuwagira eby’obulimi n’Obulunzi Buganda by’erinako enkizo okugigaggawaza n’okusitula omutindo gw’embeera z’abantu baayo.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okutumbula eby’Obulimi, Obulunzi n’obutonde bwensi:
  • Okwongera amaanyi mu “Mmwanyi Terimba”
  • Okwongera amaanyi mu kulima emmere mu Buganda naddala; ebitooke, Muwogo ne Lumonde
  • Okukwanaganya enkola etumbula eby’obulunzi mu Buganda.
  • Okutandikawo enkola ebunyisa ebikozesebwa mu kulima n’okulunda eby’omutindo mu Buganda nga Obwakabaka bukiwomamu omutwe.
  • Okubunyisa amazzi amayonjo mu masaza ga Buganda nga tutandikira e Buluuli.

 

Eby’obulimi n’Obutonde bwensi 5,592,900,000

 

  • Okutumbula Obwegassi n’okunoonya Obutale
  • Okufuula embuga z’obwakabaka naddala Amasaza n’Amagombolola ebifo eby’okwekulaakulanya nga; tutandikawo obutale obwannalubabwe, okutegekerawo emisomo wamu n’okukwanaganya ebyensimbi.
  • Okutandika ku nteekateeka z’okutandikawo Buganda Coffee Marketing Board
  • Okunyweeza ebibiina by’obwegassi
  • Okwongera okulimira abegassi ne tulakita ku nsimbi ensaamusaamu wakiri yiika 100 mu masaza abiri (2) omuli; Mawokota ne Buddu.
  • Okwongera okuteekawo ennimiro ekolerwako endokwa/ensigo entuufu
  • Okuyamba abavubuka abegassi (wakiri ebibiina bisatu) nga tubagulira ettaka wakiri yiika bbiri mu masaza Buddu ne Mawokota.
  • Okwongera okutereza ennimiro eyigirwako abegassi e Kiyimbwe, Buddu.
  • Okukulaakulanya ebibiina by’abavubuka mu byaalo bifuuke eby’okwekulaakulanya.
  • Okukulaakulanya ebibiina by’abavubuka mu byaalo bifuuke eby’okwekulaakulanya.

 

Okugaggawaza n’okusitula eby’enfuna by’Abantu ba Buganda   (Obwegassi) 2,145,540,000

 

 

Ekiruubirirwa 10: Okutumbula ebifo by’obulambuzi n’okusikiriza abalambuzi okujja mu Buganda ng’ekifo ky’obulambuzi mu Uganda.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okumaliriza omulimu gw’ebibumbe ku luguudo Kabaka Anjagala Road (ekitundu eky’okubiri – ebibumbe 40)
  • Okukola pulaani ya “cultural village” e Katabi, Entebbe nga tukolagana ne PSFU
  • Okumaliriza “Master Plan” ye Ennyanja ya Kabaka

 

 

Ebyobulambuzi  
Okulabirira n’okuteekateeka ebyobulambuzi 208,814,400
Pulaani ya “Cultural Village” e Katabi 200,000,000
Ebibumbe – 40 400,000,000
Master Plan ye Ennyanja ya Kabaka 100,000,000
BHTB Resource Centre    15,000,000
Buganda Tourism Expo 130,020,000
Miss Tourism Buganda    35,000,000
Royal mile Carnival    50,400,000
Luwombo Festival    15,000,000
Omugatte 1,154,234,400

 

Ekiruubirirwa 11: Okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu Buganda wamu n’okutumbula amatendekero g’ebyemikono.

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okwongera amaanyi mu kibiina kya Buganda Examination Council (BECO) okulaba nga ebigezo byekiteekateeka bukolebwa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo okusobola okutumbula eby’enjigiriza mu Buganda.
  • Okuteekateeka emisomo egy’enjawulo naddala egiruŋŋamya abayizi ku mirimu egiyinza okukolebwa okusinzira ku byebasomye (career guidance) mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo
  • Okwongera okutereeza emirimu mu nzirukanya y’amasomero n’amatendekero g’Obwakabaka
  • Okulaba nga MRU efuna “charter”
  • Okutandika ku mulimu gw’okuzimba ekizimbe eky’omulembe (signature building) ku MRU e Kakeeka
  • Okukwanaganya abakulembeze mu masomero agenjawulo mu Buganda n’okubategekera emisomo egitumbula ebyenjigiriza
  • Okutumbula ebitone by’abayizi mu matendekero ag’enjawulo nga tuyita mu BRASHFEST n’enkola endala.
  • Okwongera okubaga baasale eri abayizi mu Buganda

 

Okutumbula Ebyenjigiriza mu Buganda

 

Okuddukanya emirimu mu matendekero gonna 16,652,801,067
Empaka z’okuyimba mumasomero 19,100,000
Buganda Education Exhibition 19,100,000
Buganda Examination Council 45,000,000
Bursaries Scheme 8,450,000
KEF Activities and meetings 11,950,000
Okulambula Amasomero ( School Inspectors programs) 7,500,000
KEF Full SIKALA Scheme 12,535,500
Buganda Royal Art Shield Festival Costs 9,200,000
Amabaati agasuubizibwa Katikkiro Essomero e Buluuli ( 200*35,000/=) 7,000,000
Emisomo gy’abasomesane bannanyini masomero mu Buganda 5,000,000
Emisomo gy’Abazadde n’Obukiiko bwa PTA mu masomero gonna 5,000,000
Akakiiko k’Olukiiko okulondoola emirimu egikolebwa 10,000,000
Omugatte 16,812,636,567

Ekiruubirirwa 12: Okutumbula ebyobulamu ebirungi ate ebisoboka eri abantu ba Buganda bonna

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okuzimba Kabuyonjo ez’omulumbe ku mbuga za Masaza nga tukolaganira wamu ne Berkshire Partners.
  • Okugula ambyulensi ey’okumazzi
  • Okuteekateeka waakiri ensisira z’ebyobulamu musanvu (7) mu masaza ag’enjawulo.

 

Okutumbula Eby’obulamu

 

Okuddukirira ku ndwadde ya sickle cell 200,000,000
Ensiisira   7 mu mwaka ( eddagala wamu n’abasawo) 265,160,000
Public Address system    19,200,000
Okutongoza   Obukiiko bw’Ebyobulamu      5,668,000
Ensisira ku mikolo gya Buganda    69,488,884
Okukubisa Pulaani y’eddwaliro lya Buganda era n’Okutandikako okulizimba 207,000,000
Okuddukanya emirimu mu Ddwaliro ly’e Nsangi    19,200,000
Okuzimba Kabuyonjo ezomulumbe ku mbuga za Masaza 2,730,000,000
Okugula Ambulance y’Okumazzi 200,000,000
Okutambuza Kaweefube w’okugoba omusujja gw’ensiri mu Buganda      9,921,000
Omugatte 3,725,637,884

Ekiruubirirwa 13: Okuwagira n’okusobozesa abavubuka okwenyigira mu mirimu egyomugaso mu kuzimba obulamu bwabwe obwa ssekinnoomu n’egyo eginaakulaakulanya Obwakabaka.

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okukulaakulanya ebibiina by’abavubuka mu byaalo bifuuke eby’okwekulaakulanya.
  • Okuteegekera abavubuka emisomo egy’enjawulo eginabayamba okufuna obumanyi mu by’obulimi, obulunzi n’emirimu emirala
  • Okukubiriza abavubuka okuzza obugya obukulembeze mu bibiina by’abavubuka eby’enjawulo
  • Okwongera okutumbula ebitone by’abavubuka okusobola okubijjamu ensimbi ezibabeezaawo nga tuyita mu mizannyo ej’enjawulo nga omupiira.
Olusirika lwa Bakulembeze Babavubuka mu Buganda    15,000,000
Buganda   Youth Council quartertly meetings      8,100,000
Youth Skilling Project 200,000,000
Okulambika n’okuzza obujja Obukulembeze mu Bavubuka mu mwaka      8,500,000
CEO Summit- Kumutindo Project 500,000,000
Abavubuka okudda ku butaka bwabwe    10,000,000
Annual Nkobazambogo Sports and Cultural Gala    15,000,000
Okutumbula ebitone nga tuyita mu mizannyo 548,439,000
 Omugatte 1,305,039,000

 

Ekiruubirirwa 14: Okuteekawo embeera esobozesa abantu abeetaaga okubeerebwa n’okutaasibwa mu kusitula omutindo gw’embeera zaabwe n’okubakulaakulanya.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

  • Okuteekateeka emisomo egikwata ku kikula ky’abantu
  • Okwongera amaanyi mu nteekateeka ya “Amaka amalungi – Akaalo Amatendo”
  • Okulondoola n’okusomesa enkola y’ebibiina bya Bulungibwansi mu masomero
  • Okulondoola enteekateeka zonna ezikolebwa okusembeza ku mwanjo abantu bonna abeetaaga okubeerebwa

 

Bulungibwansi n’ekikula ky’Abantu

 

Okutongoza enkiiko z’abakyala, BBN n’ekikula ky’abantu      1,000,000
Emisomo:   Amaka Amalungi, Ennono, Obuwangwa, Empisa n’Okukulaakulana 9,000,000
Bulungibwansi ow’omugundu 100,000,000
Okulondola enkola ey’ebibiina bya bulungibwansi ebya abaana      1,200,000
Ttabamiruka w’Abakyala 60,000,000
Enkiiko n’Olunaku lwa bakyala    21,500,000
Enkiiko n’Olunaku lw’ abaana    11,755,000
Enkiiko n’Olunaku lwa bakadde nabiliko obulemu    11,500,000
Enkiiko n’Olunaku lw’Abassajja    11,200,000
Okuvujjirira Enkiiko nnya (4) mu mwaka eza “Kanso” y’Abakyala 10,800,000
Okunnyikiza ebikwata ku mirimu gya minisitule ku mpewo za leediyo ne TV      1,600,000
Omusomo gw’ekitongole kyekikula kya bantu      1,300,000
Obuyambi obw’enjawulo eri abaliko obulemu   mu bibiina byabwe      4,000,000
Obuyambi obw’enjawulo eri abakadde    12,000,000
Olugendo lwe lwanda      5,000,000
Enkiiko n’Olunaku lwa Bulungi bwansi    21,200,000
Omugatte 23 283,055,000

Ensonga Ssemasonga 5: Okunyweza Obumu mu Bantu ba Buganda

 

Ekiruubirirwa 15: Okukola ku nsonga z’abantu ba Buganda ababeera wabweru wa Buganda ne Uganda n’okubasobozesa okwenyigira mu mirimu gy’okukulaakulanya Obwakabaka.

 

Ek(b)inakolebwa mu mwaka 2018/19:

Mu binakolebwa mulimu bino wammanga:

  • Okulambula abaganda abali mu bitundu bya Ankole; Mbarara, Kabwohe, Ntungamo, Bunyaruguru/Kitagenda
  • Okulambula abaganda abali mu bitundu bya Busoga, Busia ne Mbale nga muno mulimu n’okutongoza omubaka w’essaza lye Mbale
  • Okuteekateeka omusomo eri abakulembeze okuva mu magombolola ga greater Mbarara, Kabwohe, Kigezi ne Ntungamo
  • Wajja kubeerawo engendo z’ebweru wa Uganda n’ekigendererwa oky’okwongera okugatta abantu ba Ssaabasajja era nga kino kijja kukolebwa mu Cape Town, South Africa.

 

Okukola ku nsonga z’Abaganda Ebweru wa Uganda 31,600,000

 

 

Ennyingiza n’Ensaasanya 2018/2019

 

 

 

Omweeso 3: Embalirira y’omwaka 2018/2019 nga egeerageranyiziddwa n’eyomwaka 2017/2018

 

 

OBWAKABAKA BWA BUGANDA
Embalirira Esuubirwa   ey’Omwaka 2018/2019
  Ennyingiza 2017/2018 2018/2019 Buli kikumi
No. Amakubo agavamu ensimbi Ezaafunibwa Ezisuubirwa
1 Envujjo, Busuulu ne Kkanzu ku Ttaka     18,082,000,000     21,907,348,544 17%
2 Ensimbi ezibanjibwa okuva mu Gavumenti eyawakati                          –        4,500,000,000 100%
3 Ebisale okuva mu bayizi     13,053,003,919     17,614,056,699 26%
4 Obusuulu okuva mu bizimbe      2,713,507,216      4,960,068,209 45%
5 Ekimu ku kikumi okuva mu baweereza          71,213,335        165,084,110 57%
6 Abanywaanyi ne Bannamikago        9,754,664,000     23,474,151,130 58%
7 Ebyemizannyo      1,049,800,000      1,302,000,000 19%
8 Satifikeeti, Ebbaluwa n’Ebifananyi eby’Obwakabaka        491,360,000        553,360,000 11%
9 Ekyokunywa kya Ngule        365,503,018        500,000,000 27%
10 Abantu ba Buganda Ebweru wa Buganda        565,268,000        318,000,000 -78%
11 Emikutu gy’Ebyempuliziganya n’Amawulire     11,258,223,500     14,382,222,331 22%
12 Ebyobulambuzi        481,176,856      1,146,420,000 58%
13 Ettoffaali            2,000,000          50,000,000 96%
14 Ebibiina by’Obwegassi (Cooperatives)        2,553,319,500        3,365,032,000 24%
15 Ensimbi ezinakuŋŋanyizibwa mu Masaza      1,537,818,758      2,059,838,750 25%
16 Ensimbi Eggwanika lye zibanja        106,647,272        158,220,376 33%
  Omugatte ogw’Ennyingiza ogwawamu 62,085,505,374 96,455,802,149 36%

 

Ensaasanya (Enkozesa) 2017/2018 2018/2019 Buli kikumi
No. Ekisaasaanyizibwaako Ensaasanya Ezisubirwa
1 Okuddukanya emirimu mu Nkuluze        7,500,000,000        8,000,000,000 6%
3 Ebyokulabirira ettaka ( Buganda Land Board )        6,500,000,000        8,500,000,000 24%
5 Okumaliriza Amasiro g’eKasubi          317,194,921        1,200,000,000 74%
10 Okwekulaakulanya n’okusiga ensimbi        7,134,016,320     19,222,007,200 63%
12 Okutumbula Ebyenjigiriza mu Buganda     12,967,029,860     16,812,636,567 23%
17 Okutumbula eby’obulamu          962,937,042        3,499,437,884 72%
18 Eby’obulimi n’Obutonde bwensi        2,024,162,000        5,592,900,000 64%
27 Ebyempuliziganya     12,341,416,196     12,477,263,209 1%
  Omugatte ogw’Ensaasanya ogwawamu 62,729,814,447 96,417,333,654 35%

 

 

G: Okuwumbawumba wamu n’ekisabibwa Olukiiko

 

 

  1. Mukama Wange Sipiika, nga mpumbawumba, nziramu okukikkatiriza nti emyaka etaano egiyise tusoosoowazizza nnyo okubangawo enkola ezinaayamba Obuganda mu lugendo lwayo olw’okudda ku ntikko.

 

  1. Oweekitiibwa Sipiika, olugendo BUGANDA KU NTIKKO tulina kulutambulira wamu nga OMUGANDA nga bajjajjaffe bwe baakola era y’ensonga lwaki tuli BAGANDA abali mu BUGANDA. Kale nno nzikkiriza nkozese omukisa guno okwebaza abaami ba Ssaabasajja ku mitendera gyonna, ebitongole n’amakampuni g’Obwakabaka byonna nga bano bonna babadde basaale mu kukolagana ne Minisitule y’Ebyensimbi okulaba nga Obwakabaka bubangawo amakubo agatutuusa mu mbeera etweyagaza era eyeeyagaza songa tetusuuliridde eby’obuwangwa n’ennono zaffe.

 

 

  1. Omulimu gw’okukyusa embeera z’abantu ba Buganda wamu n’okuwagira nnyaffe Uganda ffenna mwe twennyumiririza era nga tugabana kyenkannyi ku bugagga bwa nnyaffe Uganda tusaanidde okugukwasiza awamu era buli muntu kinnomu yetaagibwa. Kino ssi kye kiseera eky’okulwana entalo wamu n’okukottogera bannaffe. Obusongasonga buleme kutwmalira budde wabula tufunvubire tukolere wamu mu kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.

 

  1. Mukama wange Sipiika, ndeese mu Lukiiko embalirira ey’Omwaka 2018/2019. Embalirira eno abeekitiibwa abakiise mu Lukiiko luno baakola dda omulimu gw’okugyekenneenya era ne bagiwaako ebirowoozo n’okuwabula nga bwekyali kyetaagisa.

 

  1. Olukiiko luno mu kiseera kino ndusaba okufuna embalirira eno era n’okugiyisa nga Embalirira y’Obwakabaka entongole ey’Omwaka gw’Ebyensimbi 2018/2019.

 

 

Ayi Katonda Kuuma era Onyweze Buganda!

 

Ssaabasajja Kabaka Awangaale!

Robert Waggwa Nsibirwa

OMUWANIKA ERA MINISITA W’OKUTEEKATEEKA EBYENFUNA N’OKUSIGA ENSIMBI

 

9 KASAMBULA 2018

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *