Olusirika lwa “Tubangule emiti emito” lukomekkerezeddwa e Boston

By Musasi Waffe e Boston

Banna Ggwanga Mujje Boston, nga ky’ekibiina ekitaba abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu Massachusetts mu America kyaddaaki bamaliriza olusirika oluzingudde ennaku essatu nga babangula abaana abazaliddwa mu America ebikwata kubuwangwa bwabwe n’ennono ya Buganda. Mulusirika luno olwatumiddwa “Ggwanga mujje tugunjule emiti emito” era nga lwatudde mu New Hampshire Pine Acres Camp, abaana bayigiriziddwa empisa za Buganda, obwa Kabaka, okukola emirimu nga okuwaata, ennyambala, okulanya, okuzannya emizannyo gy’Abaganda, okubuuza, empisa ez’obuntu bulamu wamu n’ebintu ebirala bingi ebikwata ku Buganda.

Ng’ayogerako eri abazadde b’abaana, omusumba Michael Ezekiel Kafeero yakubirizza abazadde okulekera awo okuvumirira obuwangwa bwabwe era n’abasaba okufuuka eky’okulabirako eri abaana babwe.

Abeetabye mu Lukungaana e Boston

Ye Fr. Nanseera Vincent yategeezezza abazadde okukimanya nti eggwanga liri mumatigga olw’abantu obutafa kubuwangwa bwabwe era n’abasaba okujjumbira omulanga gwa Ggwanga mujje.

Eyakuliddemu akakiiko akateesiteesi ak’olusirika luno, omukyala Fiona Kafeero yategeezezza nti bakisanze nga abaana abamu tebalina kyebasobola kwogera mu Luganda bwatyo n’asaba abazadde okwongerza ku ebyo abaana byebayize mulusirika luno kko n’okulaba nga abazadde bafuba okulaba nga abaana babayigiriza okukola kumirimu awaka.

Abaana mutendekebwa

President wa Ggwanga Mujje Boston, Fred Katende yalaze okwenyamira kubanga abaana baalaze nti baagala nnyo Okumanya ebikwata ku Buganda kyokka bazadde nebatatwala buvunaanyizibwa kubayigiriza. Yasabye abazadde okulekera awo okusekerera abaana buli lwebakola ensobi nga boogera Oluganda kubanga abaana bategeezezza nti kyekimu kubibalemesezza okwogera Oluganda.

Kulw’abato banne, Adam Nviiri yeyasomye ekiwandiiko kyabwe mwebaasinzidde okwebaza bazadde babwe okubatwala mulusirika luno era neyeebaza abo abetabye mukubabangula.

Dr. Rev. Kasirye ng’asomesa abasiisira obukulembeze, obgwemitendera jona Mubuganda okuviraada mubikaabyaffe.

Ye omwami wa Kabaka owekitundu kya New England omusangibwa Boston, Owekitiibwa Kato Kajubi yakikkatirizza nti okukuuma abantu ba Ssaabasajja abali ebunayira nga bagoberera obuwangwa ne nnono za Buganda kirina okutandikira mu Boston kubanga ky’ekifo omusangibwa abantu ba Buganda abangi abali ebunaayira. Yeyamye okwongera okuwagira Ggwanga mujje Boston mukaweefube ono ow’okusomesa abaana ebikwata ku Buganda.

 

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *