CBS eraze amaanyi, Kabaka asiimye

CBS FM eraze amaanyi bw’etongozza studio zaayo ez’omulembe ennyo era n’eteekawo n’enkola eya App. Okumala kati emyaka 22, CBS ebadde ekozesa ebyuma ebivundu nga byava dda ku mulembe.

Mu mukuza emyaka 25 nga Ssaabasajja Kabaka atudde ku Nnamulondo, Obwakabaka bwasalawo nti CBS efune amaanyi amalala eyongere okubeera ey’omulembe. Ensonda ezesigibwa z’ategezezza nti Katikkiro Charles Peter Mayiga yalaggira Omuwanika wa Buganda Owek Robert Nsibirwa wamu n’Omukungu Michael Kawooya Mwebe akulira CBS bakole kyonna ekisoboka Obuganda bugende okutuuka ku Matikkira nga 25 nga July 31 nga buli kyuma kisaala busaazi. Era kino kya koleddwa.

Ekyo kyekyaviriiddeko Sssabasajja Kabaka okulabika mu Bulange n’aggulawo ebyuma bino ebipya wiiki ewedde. Kino ky’ekimu ku mikolo egikuza Amatikkira Jubireewo.

Akamwenyumwenyu ku Kabaka kategeeza nti asiimye ebikoleddwa aba CBS. Wano yabadde mu studio za CBS empya ttuku

Ng’oyita ku simu yo, kati osobola okufuna omuzungu ky’ayita App n’osobola okutega CBS zombi ng’oli mu buli nsi yonna. Kino kitegeeza nti kati CBS ewulirwa mu buli nsi yonna.

Twategeddeko nti CBS egenda kuteekawo enkola omuntu gy’asobola okuwereeza ebirango ng’ali eyo mukyalo era nga talina kusooka kujja mu kibuga nga bwegubadde nti. Enkola eno emanyiddwa nga digital kitegeeza nti CBS egenda kubeera yamulembe nnyo ng’abantu tebabonabona kuwereeza bubaka ku mpewo.

Kabaka ne Katikkiro mu studio za CBS empya
Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *