Katikkiro ayingira Butikkiro omwezi ogujja

Ensoda enekusifu zitegezeeza nti okuyoyoota Butikkiro kati kuwedde era nga kisubiirwa nti omwezi ogujja (ogw’Omusanvu) Katikkiro agenda kuyingira ennyumba eno. Butikkiro ge maka ga Katikkiro amatongole era gasangibwa mu mu maaso g’omulyango ogutunudde mu Wankaaki w’Olubiri lw’e Mengo.

Nga Kawenkene Milton Obote tanaba kujjawo Bwakabaka, Katikkiro yabeeranga mu Butikkiro era nga kino kyasobozesanga Kabaka okumutumya obudde bwonna kubanga yamubeeranga kumpi ddala. Jjukira nti edda teewali masimu oli gasobola kuba ate ekirala amaka amatongole gayamba nga Katikkiro okutukiriiza obuvunanyibwa nga talina ky’ayoya.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alambula ennyumba Butikkiro

Gune gwe mulundi ogugenda okuba ogusoose Katikkiro okubeera mu Butikkiro mu myaka 52 era kabonero k’amaanyi eri Obuganda. Ennyumba no yaddizibwa Obuganda emabegako oluvanyuma lw’abanonyereeza ku bulwadde bwa Mukenenya (Joint Clinical Research Centre)  okujjabuka. Okusooka, Kabaka yali abagambye basigalemu nga bwebazimba ekitebe kyaabwe e Lubowa ku luguudo lw’Entebe kubanga yali tayagala kutatagaanya okunonyereeza kuno. Bwebamala okuzimba ekitebe kyaabwe, olwo ne bava mu nnyumba eno.

Ennyumba eno kati eziddwa bugya. Katikkiro okubeera n’amaka amatongole nkola yava dda nnyo era nga bwe guli mu nsi engunyufu zonna ng’abakulembeze babeera n’amaka amatongole.

Bakatikkiro bonna ababaddewo ku Mulembe Omutebi bazze bakolera emikolo emitongole okugeza ng’Embaga ya Ddamula mu maka gaabwe ate ng’abamu oluusi tebalina na maka gagya mu kitiibwa kya Katikkiro. Okubeera n’amaka amatongole kijja kuyamba nnyo mu ntambuza y’emirimo e Mengo.

Katikkiro, Omuwanika Owek Robert Waggwa Nsibirwa (essaati emyufu), n’Omukungu Lillian Kaddu owa Namulondo Investments nga balambula ebimuli ebiri mu Butikkiro

Katikkiro bw’ayingira ennyumba eno awo kitegeeza nti ne Ssaabasajja Kabaka ajja kuddamu okubeera mu Lubiri lw’e Mengo. Ennaku zino Kabaka abadde atandise okukolera mu Lubiri e Mengo kubanga kati Twekobe yonna etemagana nga mukene.

Okuzaawo Butikkiro ne Kabaka okukolera mu Lubiri e Mengo bye bimu ku bibala ebya Amatikkira Jubireewo Obuganda nga bukuza emyaka 25 okuva Kabaka Ronald Mutebi lweyatuziibwa ku Namulondo ya bajjajjabe.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *