Obwakabaka bufulumiza Mugatta Bigambo, Akabonero k’Amatikkira Jubireewo

Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza akabonero oba kayite logo ak’Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omwaka guno. Nga July 31, 2018, gigenda kuwera emyaka 25 nga Ssaabasajja Kabaka alamula Obuganda.

Akabonero kano kalaga Ssaabasajja Kabaka ku Nnamulondo n’emyaka 25 wamu n’Empologoma. Guno gwe mulundi ogusoose Obwakabaka okukola akabonero nga kano ku mikolo gy’Amatikkira. Akabonero era kajjiddeko neMugatta Bigambo (Hashtag) ekozesebwa ku mikutu mukwanira wala ng’essoma #AmatikkiraJubireewo25. Akabonero kano kajja kozesebbwa omwaka guno gwonna naye tekajjaawo kabonero (emblem) k’Obwakabaka wabula kajja kugattibwako kubanga emyaka 25 kintu kikulu nnyo.

Akabonero k’Amatikkira Jubireewo

Kabaka Ronald Mutebi yatuuzibwa ku Nnamulondo nga July 31, 1993 e Naggalabi Buddo mu Busiro.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeyakoze omukolo guno era ng’ayambibwako omu ku ba Ssentebe b’akakiiko aketegeka Jubireewo, Owek Dr Twaha Kawaase. Omukolo gw’Amatikkira Jubireewo gujja kubeera mu Lubiri e Mmengo.

Katikkiro Mayiga n’abamyukabe nga batongoza akabonero ne Mugatta Bigambo (Hashtag) eby’Amatikkira Jubireewo

Ku mukolo gwe gumu, Katikkiro Mayiga yatongozza akakiiko akanateekateeka Amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka guno okulibeera e Villa Maria mu Buddu nga April 13, 2018. Ssaabasajja Kabaka ajja kubeera aweza emyaka 63. Akulira akakiiko kano ye Owek Apollo Nelson Makubuya, omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *