Olukiiko olutegeka Amatikkira ag’emyaka 25 lutongozeddwa

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko olunaateekateeka amatikkira ga Kabaka aga 25 era nga lukulemberwa Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Owek Dr. Twaha Kigongo Kawaase. Ku lukiiko luno kuliko n’abaana b’engoma okuli, omulangira Cryspin Jjunju n’omumbejja Joan Nassolo.

Abalala kuliko Owek Noah Kiyimba minisita w’amawulire wamu n’Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa wamu n’abakulira ebitongole by’Obwakabaka bonna. Omugagga Emmanuel Katongole naye kwali ku lukiiko luno. Olukiiko lutandise omulimo guno.

Olukiiko olunategeka Amatikkira ag’emyaka 25.

Kinajjukirwa nti Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo nga July 31, 1993 olwo n’azaawo Obwakabaka Kawenkene Obote bweyali agyewo mu 1966.

Kabaka Mutebi ye Kabaka yekka mu nsi yonna eyali asobodde okuzza obwakabaka nga buvuddewo. Awalala wonna gyebwajjibwa, Obwakabaka tebuddanga.

Katikkiro era atongozza enkola ya Kabbo ka Luwalo 2018 nga muno e Ggombolola enaasinga okuleeta oluwalo olungi yakuweebwa sseddume w’ente ne pikipiki.

Baminisita ba Kabaka n’abaana b’engoma

Omwaka oguwedde Ggombolola ya Mutuba III Makindye yeyalya mu ndala zonna akendo era Katikkiro abakwasizza ekirabo kyabwe eky’ente.

Katikkiro era alangiridde abaami ba Kabaka abaggya ab’omu Maggombolola okuli, Mukulu wa Kibuga Lubaga ( Omwami Ruth Kalyesuubula) amyukibwa Mw. Samuel Mukasa Bakanoga, Ggombolola Mutuba IV Kampala Masekkati (Omwami Kawuma Male), amyukibwa, Hajji Moses Musisi Ntege, mw. John Samuel Muwanga Mpiima ne Mohammad Mutabaazi Ndawula. Ggombolola Makindye Ssaabagabo Lufuka, (Omwami Matia Kayija), amyukibwa mukyala Sylivia Nabulime Ssemuyaba.

Abantu nga babuuza ku Katikkiro

Mu nkola ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka guno, Amaggombolola okuli Ssaabaddu Ntenjeru, Mutuba VIII Koome, Ssaabawaali Buikwe gakiise Embuga ne galeeta oluwalo olusobye mu bukadde musanvu.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *