George Kasedde Mukasa, Jjajja wa Kabaka afudde

George Kasedde Mukasa, Jjajja wa Ssaabasajja Kabaka era munna Rotary kakongoliro yafudde.  Omugenzi George Kasedde Mukasa mutabani w’omugenzi Ham Mukasa. Omugenzi Ham Mukasa eyali Ssekiboobo ye yali azaala omugenzi Victoria nnyina wa Namasole Sarah Nalule Kisosonkole, maama wa Ssaabasajja Kabaka.

Omugenzi Kasedde yafiiridde ku Life Link Clinic e Ntinda gyeduzikiddwa oluvanyuma lw’okubwa olumbe lw’omutima (heart attack). Omugenzi Kasedde abadde abeera Ntinda era abadde mu kibiina kya Rotary mu Rotary Club of Kampala. Kinajjukirwa nti Omugenzi Kasedde yafiirwa mukyalawe emyezi mukaaga kati.

Omugenzi George Kasedde Mukasa, abadde Jjajja wa Ssabasajja Kabaka

Omugenzi yatonera ekibiina kya Rotary ettaka erisoba mu yiika 20 okuzimbako eddwaliro kisobozesse abafunye obubenje ku luguudo oludda e Jinja okufuna obujjanjabi amangu. Ettaka lino liri Mukono era eddwaliro lyazimbibwa.

Omugenzi ajja kusabirwa mu Lutikko e Namirembe ku Lwokuna lwa wiiki eno ate aziikwe e Nansuti Mukono mu Kyaggwe ku Lwokutaano.

Gusinze ayi Ssaabasajja Kabaka

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *