Abasaakaate 400 bagunjuddwa

Ekisaakaate kya Nnabagereka 2018 kikomekkerezeddwa. Abayizi abasoba mu 400 babanguddwa era basomeseddwa engeri gye balina okweyisaamu, okukola emirimu, obwetowaaze, obwerufu, okubeera bantu balamu ate ab’empisa.

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu. Mu bubakabwe, Katikkiro akubirizza abazadde okuffissaawo obudde bayigirize era bagunjule abaana baabwe empisa ez’obuntubulamu. Agasseeko nti, buvunaanyizibwa bw’abazadde okuyigiriza abaana obukulembeze obulungi, obutali bwa kweyagaliza oba okubba, wabula obwo obunaayamba eggwanga okugenda mu maaso.

Katikkiro ne Nnabagereka ku mukolo gw’ekisaakaate

Abayizi boolesezza ebitone eby’enjawulo omuli okuyimba, okufumba, eby’emikono wamu n’emizannyo emirala mingi.
Katikkiro akwasizza ebirabo abayizi abasukkulumye ku bannaabwe era nakwasa n’abavujjirizi ebirabo ebibasiima okuwagira enteekateeka y’ekisaakaate.

Ekisaakaate kino kya mulundi gwa 12 bukya kitandikawo era nga kitambulidde wansi w’omulamwa “Obuntubulamu butandikira kunze”. Maama Nnaabagereka yagabudde Abasaakaate keeki ng’ekijjulo eky’okubasiima okwetaba mu kisaakaate.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *