Okufukamira tekimalaako muntu ddembe lye

Muli bwanga mubeeramu empisa ezikumiibwa okusobola okuuma obuwangwa n’abantu nga bassa kimu. Mu Buganda, abakyala n’abasajja bafukamira nga babuuza wadde nga kyeyolekedde nnyo mu bakyala.

Abasajja bafukamira nga babuuza Ssaabasajja Kabaka, ba nyaabwe oba n’abantu abakulu abalala. Ku mikolo gy’okwanjulwa, abasajja bafukamira nga babuuza abazadde oba nga bazaalibwa. Kyokka ne mu bazungu, abasajja bafukamira nga babuuza Nnaabakyala wa Bungereza oba bwe babeera basaba okufumbiriganwa eri abagaala baabwe (proposing marriage).

Nankulu wa KCCA Jenifer Musisi Ssemakula ng’abuuza Nnaabagereka

Omutu yenna bwavaayo nga Winnie Byanyima bweyakoze ng’avumirira abakyala okufukamira nti kibamalako eddebe lyabwe aba tategedde bulungi nsonga nza nnono na mpisa zaffe ng’Abaganda. Winnie Byanyima yinginiya wa nnyonyi era mukyala wa Dr Kizza Besigye era yakulira ekitongole ekigaba obuyambi ekya Oxfam International. Winnie Byanyima agamba nti omukyala bwabuuza omuntu ng’ayimiridde olwa babeera benkanankana.

Kino si kituufu. Byanyima ava mu Ankole. Abakazi mu kitundu kino tebafukamira kubuuza wabula beegwa mu bifuba n’ebesika ne mu ngalo. Abakyala bano abava mu Ankole bangi nnyo tebanafuna mwenkanonkano n’abasajja ate nga bo tebafukamira nga Byanyima bw’ayagala tulowooze.

Mu butuufu mu bitundu ebimu ebya Ankole gamba ng’ebyo ebirimu Abahima, omuwala asomye n’atuuka ewala ennyo ebiseera bingi takirizibwa kufumbirwa musajja yenna gw’ayagala ssinga abeera nga si Muhima. Jjukira bano tebafukamira naye tebasobola kufumbirwa musajja gwe beyagalidde!

Omudusi Mo Farah nga yeefukamiridde Nnaabakyala wa Bungereza

Mukyala Byanyima akambuwala ng’ayitiddwa Mukyala Besigye. Agamba nti omukazi bw’afumbirwa omusajja okweyita erinnya lya bba kimalawo omwenkanokano. Kyokka erinnya Byanyima mu Ankole si lya bakyala wabula lya basajja. Winnie alina erinnya ery’ekiwala erya muweebwa naye yasalawo obutalyeyita ne yeyita erya kitaawe. Omugenzi Bonaface Byanyima yali musajja w’amaanyi nnyo era munnabyabufuzi kakongoliro. Yali Ssentebe wa Democratic Party okumala ekiseera era y’omu kubantu abasinga obugagga mu ggwanga. Ndowooza muwalawe ono yalaba nga bwateyita Byanyima abafiirwa. Anti ne Winnie okumala ekiseera kiwanvu yali mukiise mu parliament ya Uganda. Bweyabanga anoonya akalulu erinnya lya kitaawe lya muyambanga.

Winnie Byanyima avumirira okufukamira

Ekirala Winnie Byanyima agamba nnyo nti awolererezza eddembe ly’abantu. Okufukamira nalyo ddembe ly’omukyala ekitegeeza nti omukyala asobola okwesalirawo okufukamira oba obutafukamira.

Okulowooza nti abakazi bwebafukamira olwo omwenkanonkano tegusobola kubaawo tubeera twerimba. Ekireetawo abasajja okusukuluma ku bakyala si kufukamira wabula byanfuna. Mu nsi za bazungu ezakula edda, abasajja basukulumizibwa ku bakyala wadde nga bonna bakola empalo ez’okufumba emmere n’okwoza amasowani. Abasajja bangi basasulwa ssente nyingi okusinga abakyala okukola emirimo gy’egimu. Kyokka nga zino nsi abakyala gye bambala empale era gye batafukamira. Omukunganya wa BBC omukyala yalekulidde bweyategedde nti abasajja abakola nabo emirimu gye gimu abamu ne babadde akulira babadde bafuna ensimbi nnyingi okusinga ku ye.

Mu Uganda wano abakyala bangi mu mawanga amalala tebafukamira naye basinga okubeera n’omwenkanonkano okusinga abasajja? Abakyala ba Buganda wadde bafukamira balina omwenkanonkano gw’amaanyi okusinga abakyala abava mu bitundu bya Uganda ebirala.

Kino kitegeeza nti abantu bonna abagala okutuntumula eddembe lya’abakyala n’omwenkanonkano balisoose ne balaba engeri gye bayamba abakyala bano okutuntumula eby’enfuna zaabwe.

 

 

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *