Katikkiro atongozza Bbaasi enatwala abalambuzi e Kasubi

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Bbaasi eya kalina eyamba abalambuzi okulaba obulungi ebibuga. Bbaasi eno yatongozzebwa ku Masiro e Kasubi Katikkiro bweyabadde agenze okulambula omulimo guno weegutuuse.

Amasiro bweganaggwa obulambuzi bujja kuddamu okutojjera mu Buganda kubanga abantu bangi bagetanira era Bbaasi eno esuubirwa okukola omulimo guno.

David Nsibuga (mu ssaati e myufu) ne Katikkiro mayiga

Bbaasi eno ya David Nsubuga owa Promote Uganda era ng’atuula ku Lukiiko lw’Ebyobulambuzi mu Buganda. Nsubuga weyaletedde bbaasi eya kalina era ensanukule waggulu etambuza abalambuzi Katikkiro n’agitongoza.

Bbaasi eno yesoose mu Uganda naye nga mu nsi ezakula, abalambuzi beetanira nnyo okulambula ebibuga nga batudde ku bbaasi ng’eyo.

Bbaasi eya Kalina etambuza abalambuzi

“Twebaza Mwami Nsubuga olw’obuyiiya era tukubirizza abantu babeere bayiiya. Obulambuzi busobola bulungi okuvaamu ensimbi ezegasa ate nga wano mu Buganda eby’obulambuzi tulina ebitali bijingirire bingi ddala,” Mayiga bweyagambye.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *