Kabaka asiimye omulimo ogukolebwa ku Masiro e Kasubi

Ssaabasajja Kabaka asiimye omulimo amatendo ogukolebwa ku Masiro e Kasubi. Kino kyeyolekedde ku kijjulo ky’agabidde abantu abali ku mulimo guno okumalako omwaka wamu n’okulambula Amasiro.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyakulembeddemu okulambula kuno ngali n’Omulangira Cryspian Jjunju Kiweewa wamu n’abankungu abalala bangi. Katikkiro yategezezza nti kati essuubi lirabika bulungi nti omulimo gunatera okuggwa.

Katikkiro mu Masiro e Kasubi

“Omulimu gugenda mu maaso bulungi. Tusuubira nti omwaka 2018 wegunaggwerako nga Muzibu Azaala Mpanga awedde,” Mayiga bweyagambye. “Tubebaza kubanga tukimanyi bulungi obuzibu obuli mu mulimo guno. Mwebale okwolesa obukugu, obuyiiya wamu n’obumaliririvu wamu n’obutebalirala,” Mayiga bweyagambye.

Omulimo gwa bukugu bwawaggulu nnyo

Oluvannyuma lw’okulambula kuno, Mayiga yategezeezza abakozi nti Ssaabasajja kabaka yasiimye bafune ekijjulo olwokubebaza omulimo omulungi guno.

Ensoda ezesigika mu Lubiri zaategezeezza nti Kabaka musanyufu nnyo era y’ensonga lwaki Omulangira Jjunju Kiweewa yawerekeddeko Katikkiro mu kulambula kuno wamu n’okugabula ekijjulo. “Kabaka musanyufu kubanga kati alaba bulungi nti Amasiro ganatera okuggwa. Tusuubira nti Amasiro gano gayinza n’okuggwa nga 2018 ali mu makaati awo naye ndowooza Katikkiro teyayagadde ku kiraga bwatyo,” Omuntu waffe mu Lubiri bweyagambye.

Katikkiro n’Omulangira Jjunju nga basala keeki mu Masiro ng’akabonero akalaga obuasanyufu bwa Ssaabasajja Kabaka eri omulimo ogukolebwa e Kasubi

 

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *