Obuzibu bwa Muteesa I Royal University buva ku ki?

 Bya Nyanzi Ssentamu

Okwerumaluma n’entalo ezitatadde zisusse mu Ssetendekero w’Obwakabaka bwa Buganda erya Muteesa I Royal University. Ssetendekero ono yatandikibwa okuyamba abaana ba Buganda n’abalala okusobola okufuna eby’enjigiriza ebirungi. Bukyanga etandika, entalo teziggwa.

Abakozi abamu balowooza nti omulimo gwabwe omukulu kugoba bakama baabwe okusingira ddala akulira Ssentendekero (Vice Chancellor). Buli budde bawoza Vice Chancellor alemeddwa. Vice Chancellor omulala bw’ajja ate nga bagamba oli avuddeko abadde mukozi nnyo naye ono bimulamye.

Abakozi bano oluusi abawagirwa abakulu e Mmengo wamu n’abo abali ku kakiiko ka university akafuzi ab’enoonyeza ebyabwe oba okulwana entalo n’abo beba tebakiriziganya nabo. Abantu bano balowooza nti okumalawo obuzibu bwonna mu Ssetendekero eno balina kwediima. Kyeberabidde nti abayizi bwebatava mu kwekalakaasa, olwo Ssentendekero eba egwa. Abasomesa bwebediima ng’ekibediimya tekiriiwo, baba berabidde endagaano zaabwe. Omusomesa bw’oba owulira nti omulimo gukulemye, lwaki tossaamu empapula n’ogenda ewalala?

Okugeza, Vice Chancellor aliko kati Pulofeesa Arthur Sserwanga yasanga abakozi bamaze emyezi mukaaga nga tebasasulwa. N’akola kyonna ekisoboka okulaba nti bafuna ssente zaabwe era weetwogerera abasomesa babanja omwezi gumu gwokka. Naye bwebavaawo nti bimulemye. Bimulema bitya nga temubanja? Oba mwe abamulemesa?

Pulofeesa Arthur Sserwanga, Ssenkulu wa Muteesa I Royal University

Ekituufu kiri nti abakozi bangi bali bawandiikibwa mu Ssetendekero era n’ebitongole by’Obwakabaka ebirala si lwakuba nti bali basomye nnyo oba balina obukugu obwamaanyi wabula kubanga baali balina bebamanyi era nti kubanga bagazi ba Ssaabasajja Kabaka ekiyitiridde. Katikkiro Charles Peter Mayiga aze aky’ogera buli lukedde nti ku mulembe guno, okwagala Kabaka nga kye kyokka ky’olina tekimala. Weetaaga okwagala Kabaka naye nga n’obusobozi obulina obusaanidde okubeera mu kifo ekyo.

Ssetendekero bw’eteeka emirimo mu mpapula z’amawulire abakozi basabe ebifo ebisava ng’amyuka akulira yunivasite oba muyite Deputy Vice Chancellor abakozi bangi abakola kati tebasobola kufuna kifo ekyo. Waliwo amateeka agayisibwa ekitongole ekifuga amatendekero aga waggulu gonna mu ggwanga ekya National Council for Higher Education kyegagoberera omuntu okusobola okubeera omumyuka wa akulira Ssettendekero. Naye abakozi bameka kati abali mu Muteesa I ab’egwanyiza agafo agasava ng’ago abalina okukugu?

Abasomesa tebagaala kola kunonyereeza (research) ne bawandiika ebyo bye banonyereezza kibasoboze okutuuka ku maddaala ag’obwa pulofeesa. Bw’oba towandiika kufulumya bitabo oba empapula ebiraga nti olina amagezi ag’enjawulo g’otaddewo (academic papers in peer reviewed journals), tosobola kufuuka pulofeesa oba kugenda ku ddaala ddala. Abasomesa bameka abakoze kino? Bakola kimu kyakuwandiika zi kiro kitwala omunaku mu kifo ky’okukola ebisobola okubongera mu bukugu.

Pulofeesa Sserwanga yasanga ebizibu bingi mu Ssetendekero eno era okujjako amabanja g’abasomesa, yunivasite yalina amabanja amalala mangi nnyo naye nga kati gasasuddwa. Kino ky’ava ku kuteekawo enkola abayizi mwebayitira nga basasulira ssente mu bbanka. Edda, abayizi ssente bazireetanga mu woofiisi. Olwo abakola mu woofiisi zino nebalyoka bazikozesa nga bwe bagaala.

Ekirala Pulofeesa Sserwanga yateekaawo enkola enungamu yunivasite mw’eyita okugula ebintu oba mu luzungu kyebayita Procurement Policy. Oli kati tamala gasalawo nti tugule kino oba kiri era tukigule kw’ani. Emitendera gino gyamalawo abakozi abali betandikidde bu kkampuni obw’omunsawo okufuna emirimo mu yunivasite.

Okujjawo enkola eyo abakozi ba yunivasite abamu mwe bafuniranga nga bakozesa ssente nga bwebagaala kye kimu ku bizibu Pulofeesa Sserwanga by’alina. Abakozi bano balowooza nti bw’avaawo olwo enkola enkadde eddamu olwo nebafuna ssente nga bwebagaala.

Ebirungi bingi ebitukiidwako nga Sserwanga ali mu woofiisi omuli n’okuteekawo amasanyalaze g’enjuba (solar power) okukendeeza ku miwendo emingi yunivasite gyeyasasulanga buli mwezi. Omuyizi kati bw’atikkirwa agenda ne bbaluwa ye mu ngalo ku lunaku olwo lwe nyinni. Amatendekero g’ebya sayansi gaafuna ebikozesebwa eby’omulembe ddala wamu n’ebirala bingi.

Tekisaanye kulowoozebwa nti ebizibu bya Ssetendekero ono bigwawo abagikulira ettendekero bwe bagobwa nga tewali nsonga nambulukufu bulungi oba abamu ku batuula ku kakiiko akafuzi (university council) bwebakuma mu bayizi n’abakozi omuliro okwekalakaasa.

Bwetuba twagala Ssetendekero ono akule era avuganye tulina kuleetawo enkola esobozesa ebintu okutambula so si kulwanagana nakukozesa bifo byaffe okukola obukundi. Abaganda basaana bamanye nti abantu bajja kubanenya olw’okusuula ettendekero lino kubanga twagala okuganyulwa ng’abantu okusinga nyaffe Buganda.

Omuwandiisi mugobelezi w’eby’enjigiriza mu Buganda

 

 

 

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *