Dr Kawaase akuutidde abasomesa ku bibuuzo

Obwakabaka bufulumizza ebigezo ebya Buganda Examination Council (BECO) eby’okwegezaamu ebyakolebwa abayizi abalindiridde okukola eby’akamalirizo ku mutendera gwa Primary ne Secondary.

Minisita w’eby’enjigiriza e Mengo era Omumyuka wa Katikkiro owokubiri Dr. Twaha Kigongo Kaawaase asabye amasomero gajjumbire okwewandiisa mu bigezo bino kiyambeko abayizi okwetegekera obulungi ebya UNEB.

Dr Kawaase ku mukolo gw’ebibuuzo

Abayizi ba Primary abatuula baali abaana 23,564, Secondary (S.4) 2,298, ate Secondary (S.6) 780.

Abalenzi baakoze bulungi okusinga abawala. Amasomero agasoba mu 50 gegaakola ebigezo bino.

Dr Kawaase akubirizza abasomesa okutegeka abaana obulungi basobole okwetannira mu bigezo eby’akamalirizo ebya Uganda Examination Board ebinatuliibwa mu ttaamu eno.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *