Ssaabasajja Kabaka atongozza ekitabo ky’eby’obulambuzi

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye n’aggalawo omwoleso gw’eby’obulambuzi ogubadde guyindira mu Lubiri e Mengo. Beene yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ne minisita w’eby’obulambuzi Owek Rita Namyalo era olwatuuse n’alambula emidaala egy’enjawulo omuli egy’Ebika, Amasaza n’egy’abantu ssekinnoomu.

Kabaka ng’atongoza ekitabo ky’eby’obulambuzi

Ssaabasajja Kabaka yasabye abakulembeze n’abantu bonna okukuuma obutonde bw’ensi. Mu ngeri yeemu Ssaabasajja atongozza ekitabo ky ‘ebyobulambuzi mu Buganda ekya Buganda The gateway to the Pearl of Africa.

Nnaabagereka ng’atikkira Nnaalulungi

Nnaabagereka Sylivia Nagginda yatikkidde nnalulungi wa Buganda Maria Nakasiga engule ey’obuwanguzi. Oluvanyuma abavubuka ba Ghetto Kids basanyusiza Ssaabasajja Kabaka ng’abalaga ebitone mu kuzina amazina agabafudde abamaanyi enyo mu nsi yonna ensangi zinno.

Ghetto Kids nga basanyusa Omutanda
Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *