Abavubuka basiimye Obwakabaka

Obwakabaka busiimiddwa olw’okutumbula wamu n’okukulaakulanya embeera z’abantu.  Ekibiina kya Uganda Youth Talents Promotions kinokoddeyo Obwakabaka bwa Buganda ng’obusinze okuwa abavubuka emirimu, okubakubiriza okukola wamu n’okwerwanako.

Abavubuka nga bakwasa Owek Kiyimba ekirabo

Minisita w’amawulire Owek. Noah Kiyimba akiikiridde Katikkiro ku mukolo guno akubirizza abavubuka okukomya okwekubagiza wabula basitukiremu batandike emirimu egy’enjawulo beekulaakulanye.

Ssenkulu w’ekibiina kino Kasim Male agamba nti engiri Katikkiro Charles Peter Mayiga gyasaasaanyiza mu bavubuka Ensonga Ssemasonga ey’okuna ey’okukola obutaweera, ekyuusizza nnyo embeera z’abavubuka ssaako abantu ba Kabaka aba bulijjo.

Bano bawerekeddwako omuyimbi Geofrey Lutaaya owa The New Eagles Band naye eyawangudde engule  olw’okutumbula ebitone by’abavubuka nga ayita mu kuyimba.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *