Ggomba yalaze amaanyi mu gy’Amasaza

Gomba ye nnantameggwa w’empaka z’emipiira gy’Amasaza ga Buganda omwaka 2017. Ggomba yakubye Ssingo goolo 1-0 mu kisaawe e Namboole.

Nicholas Kabonge yateebye goolo ya Ggomba mu ddakiika eye 60. Ssaabasajja Kabaka yasiimye naakwasa omuwanguzi ekikopo ne cheque ya bukadde 10.

Kabaka ng’akwasa ab’e Ggomba ekikopo

Buddu yakutte kyakusatu bweyakubye Busiro goolo 4-2 naasitukira mu kavu w’ensimbi wa bukadde 5. Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omulangira David Wasajja, ba minisita ba Kabaka, abaami ba Kabaka n’abakungu okuva mu gavumenti eya wakati nabo babaddewo.

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *