Buweekula ayuugumye nga Kabaka aweza emyaka 24 ng’alamula

Essaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Buweekula liyuugumye nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi aweza emyaka 24 ng’alamula Obuganda.

Abantu bangi beeyiye ku mbuga y’essaza okuba abajjulizi nga Kabaka ajaguza. Gavumenti eya wakati ekikiriddwa Ssaabaminisita Ruhana Rugunda. Abakiise mu Palamenti bangi babaddewo ng’Obuganda bujjukira olunaku luno.

Nga bulijjo, Beene asoose kukuba dduyiro ng’obudde busasaana.

Maaso Moogi asinzidde ku Matikkira ge naasaba okukulaakulanya ebifo by’obulambuzi okusobola okujjamu ensimbi.

Kabaka Mutebi akubirizza abavubuka okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya okusobola okukuuma ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eteese ne nannyini ttaka era emusasule nga ettaka lye terinatwalibwa ku lw’enkulaakulana y’ekitundu.

Nnabagereka, omulangira Ssemakookiro, omulangira Jjunju, omumbejja Joan Nassolo, Omumbejja Ssangalyambogo.

General Salim Saleh naye ku mukolo abadde ko.

Wammanga laba ebifanaanyi ng’omukulo bwegubadde

 

 

 

Facebook Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *