Omulangira Nakibinge avudde mu Muzaata, alagidde Abasiraamu bawagire Katikkiro Mayiga

Bya Hussein Abdul Kasibante

Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu, Jjajja W’Obusiraamu yalabiseeko mu bimuli bya Bulange nga Katikkiro Charles Peter Mayiga asibuluula Abasiraamu wiiki eno. Enkola ey’okusibuluula Abasiraamu yatandikibwa Katikkiro Mayiga kati nga guno mwaka gwa ku satu.

Abasiraamu bangi beyiiye mu bimuli bya Bulange nga bakulembeddwamu Omulangira Nakibinge okulya ekijjulo ekimanyiddwa nga Futaali. Guno gwe mulundi ogwasoose nga Kakungulu yeetaba mu kijjulo kino mu Bulange.

Omulangira Kakungulu olw’akutte akazindaalo n’ategeeza Abasiraamu bonna nti ekyamuleese ekikulu kwe kutegeeza Abasiraamu n’Obuganda bwonna nti tayina buzibu bwonna ne Katikkiro Mayiga wamu ne Mengo ng’amawulire agamu bwegabadde gabijweteka.

 

Katikkiro n’Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu, Jjajja w’Obusiraamu nga batuuka mu Bulange

“Enkolagana yaffe nnungi nnyo ddala ne Katikkiro Mayiga wamu ne Mengo yonna. Katikkiro emirundi mingi ajja e Kibuli ne tusisinkana ate emirundi mingi twekubira amassimu netwogera ku nsonga nnyingi,” Omulangira Kakungulu bweyategezeezza.

“Waliwo amawulire agabadde gagamba nti Katikkiro nange tetukolagana. Ekyo sikituufu n’akamu,” Kakungulu bweyagasseeko era n’akubiriza Abasiraamu okuwagira enkola za Katikkiro nga mwotwalidde n’Ekyapa Mu Ngalo.

Ekiseera kati kiweze ng’omwogezi w’e Kibuli Sheik Nuhu Muzaata avuma Katikkiro wamu n’enteekakateeka zonna. Abasiraamu bangi bulijjo balowooza nti oba olya awo Muzaata akolera ku ntoli z’Omulangira. “Tewali muntu yenna gwe tutuma kuvuma Katikkiro wamu ne Ssaabasajja Kabaka. Akikola yenna akikola ku lulwe,” Omulangira bweyagambye.

Katikkiro n’Omulangira ku kijjulo kya Futaali

Wadde ng’Omulangira teyayogedde linnya lya Muzaata mu lwatu abantu bonna bakitegedde bulungi nti Omulangira gwe yabadde ategeeza. Era Abasiraamu bangi bakubye engalo era nga balanga nti basanyufu Omulangira ayogedde ku Muzaata.

Okukyala kw’Omulangira e Mengo n’atuula wamu ne Katikkiro Mayiga ne balya Futaali kabonero kalungi eri Abasiraamu abagala Kabaka waabwe. Kino kijjawo ebyo byonna ebibadde biyita nti Omulangira tayagala Ttoffaali wamu n’Ekyapa mu Ngalo enkola za Katikkiro zombi Muzaata z’abadde ayitirizza okuvumirira.

Okulabika kw’Omulangira e Mengo kuzze nga wakayita ennaku mbale nga Ssaabasajja Kabaka alagidde Abaganda bonna okuwagira enkola za Katikkiro Mayiga wamu n’okusonjola liizi mu nkola y’Ekyapa Mu Ngalo. Ekyapa Mu Ngalo y’enkola esobozesa abantu abali ku bibanja ku ttaka lya Kabaka abagaala era abasobola okufuna liizi eza emyaka 49, 75 oba 99 okukikola ku ssente ensamusaamu. Ekyapa Mu Ngalo kya kyeyagalire.

Okujja kw’Omulangira e Mengo kisanyudde Abasiraamu era ne bagamba kati bategedde bulungi nti Muzaata tatumibwa bakulu b’e Kibuli wabula avuma Katikkiro olw’okuba tayina magezi bulungi.

Kati Abasiraamu ffenna tuveeyo twefunire liizi ate tuyambe Katikkiro okulamulirako Ssaabasajja Kabaka Obuganda obulungi. Kino kitukwatako nnyo ffenna era y’ensonga lwaki Jjajja ffe Omulangira Kakungulu yesitudde n’ajja e Mengo.

Era kisanidde Muzaata bw’ajja mu mizikiti gyaffe n’atandika okwogera kalebule ku Katikkiro, tuleme kuddawo kuba ngalo wabula tumujjeko omuzindaalo kubanga jjajja ffe, Jjajja w’Obsuraamu kati amaze okulambika obulungi.

Mpozzi nga malirizza, Katikkiro Mayiga yalabise bulungi nnyo mu Ntalabuusi wamu n’ekanzu!

 

 

Facebook Comments

Leave a Reply to Anonymous Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *